Bugingo alojja ababadde baagala afe mu 2023

Jan 05, 2024

Mu kumu ku kubuulira kw’ennaku enkulu, Bugingo yayogera ku bantu abaali beesomyeokumulemesa okumalako omwaka.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Musasi waffe

Mu kumu ku kubuulira kw’ennaku enkulu, Bugingo yayogera ku bantu abaali beesomye
okumulemesa okumalako omwaka. Era nti waliwo abaludde nga bamulondoola. Teyabaatula kyokka yagamba nti baakola bingi naye ng’ekyasinga okumwewuunyisa
y’engeri gye baalwana alemererwe okutegeka olukung’aana lw’okusonda ssente z’okuzimba ekkanisa mu November wa 2023.

Nti yapangisa weema za mirundi esatu nga buli kadde wabaawo amulemesa. Yatuuka
n’okugamba nti waliwo we yasasula ensimbi mu kkaasi kyokka kyamwewuunyisa ate bwe beefuula ku ssaawa ensembayo.

Nti kyokka mu kifo ky’okumuddiza ssente mu kkaasi, ate baaziyisa ku akawunti mu bbanka. Waliwo abaamuwa amagezi aloope mu kkooti kyokka n’atakikola kuba kkooti ye gy’aloopamu ensonga ze si ya ku nsi wabula mu Ggulu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});