Abagambibwa okunyaga ssente ku akawunti za bakasitoma bazziddwa mu kkomera

Jan 10, 2024

OMULAMUZI wa kkooti ya Buganda Road atabukidde abawawaabirwa mu musango gw’okubba ssente ku akawunti za bakasitoma mu Housing Finance Bank n’abalabula obutalowooleza mu kumugulirira abate.

NewVision Reporter
@NewVision

OMULAMUZI wa kkooti ya Buganda Road atabukidde abawawaabirwa mu musango gw’okubba ssente ku akawunti za bakasitoma mu Housing Finance Bank n’abalabula obutalowooleza mu kumugulirira abate.
Abawawaabirwa nga bali 14 baaleeteddwa mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi
owa kkooti ya Buganda Road ku misango gy’okuggya ssente obuwumbi 8 n’obukadde 24 ku akawunti za bakasitoma mu bbanka ya Housing Finance ne bazeegabanya.
Omulamuzi Kayizzi yagambye nti yategeddeko nti abavunaanibwa basaasaanyizza ssente nnyingi mu kugezaako okugulirira n’akabatema nti bwe baba balina ssente ze baasasudde zaabafudde bwereere era bwe kiba kisoboka bazisabe abo be baaziwadde. Abavunaanibwa mu musango guno kuliko; Tawufik Mubaraka Muganga 31 ow’e KateFalawo Kawempe, Sadat Mubiru olumu nga yeeyita Shad 38, w’e Mengo Balintuma , John Baptist Kato Ssewannyana 49 w’e Nabaziza Kyengera, Umar Sande 29 w’e Nansana Yesu Amala, Adam Kakooza w’e Kitutwe e Kira, Napoleon Kakye
w’e Buwaate, Shafik Mwanje w’e Najeera, Mubarak Ssegujja oluusi nga yeeyita Mubaraka Muhammad Hamaad wa Koona zooni e Kawempe.
Abalala ye Derrick Ssekandi w’e Nasuuti Mukono, John Male Ssali w’ e Kawanda, Said Male Kayiira w’e Kasagala Mukono, Richard Kirango Muhangi w’e Kisowera mu Mukono ne Less Mwijaye ow’e Kisowera.
Bano baasabye okweyimirirwa, omulamuzi n’ategeeza nti waakusalawo nga January 24 2024 oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okusaba okusooka okwetegereza ebiwandiiko ebyaweereddwaawo abavunaanibwa.
ENGERI GYE BAALUKAMU OLUKWE
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga yagambye nti abawawaabirwa emisango baagizza wakati wa October ne November 2023 abavunanibwa bwe beekobaana ne baggya ssente 8,024,000,000 ku akawunti za bakasitoma mu Housing Finance bank 49 ne bazisindika ku akawunti endala oluvannyuma ne baziggyayo ne bazeegabanya. Yagambye nti bagingiriraebiwandiiko omuli densite nga beeyise bannannyini akawunti.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});