Bannayuganda 3 baakuvunaanibwa e Bungereza ku by’okutunda Crane Bank

Jan 10, 2024

KKOOTI ensukkulumu e Bungereza eragidde aba bbanka ya DFCU ne Bannayuganda basatu bavunaanibwe olw’okwenyigira mu kuwaayo n’okutunda Crane Bankey’omuggaga Sudhir Ruparelia mu ngeri y’obukuusa. Abalina okuvunaanibwa kuliko;Juma Kisaame, William Sekabembe ne Jimmy Mugerwa nga baakusimbibwa mu kkooti mu Bungereza bavunaanibwe.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

KKOOTI ensukkulumu e Bungereza eragidde aba bbanka ya DFCU ne Bannayuganda basatu bavunaanibwe olw’okwenyigira mu kuwaayo n’okutunda Crane Bank
ey’omuggaga Sudhir Ruparelia mu ngeri y’obukuusa. Abalina okuvunaanibwa kuliko;
Juma Kisaame, William Sekabembe ne Jimmy Mugerwa nga baakusimbibwa mu kkooti mu Bungereza bavunaanibwe.
Kkooti okuyisa ekiragiro kino kiddiridde abakulu mu DFCU bbanka okugaana okutuukiriza obuvunaanyizbwa bwabwe nga bawaayo ebyali byetaagisa okuwulira
omusango nga bagamba nti omusango gwazzibwa mu Uganda noolwekyo kkooti y’e Bungereza terina lukusa kuwulira nsonga zino.
Ensonga zaabwe zaagobwa kkooti ejulirwamu e Bungereza ne babalagira okussaamu okwewozaako kwabwe kyokka kkooti ejulirwamu yalagira omusango gugende mu maaso mu kkooti y’e Bungereza ne bassaamu okujulira ng’era bakiwakanya. Kkooti yagenda mu maaso n’egoba ensonga zaabwe ne baddukira mu kkooti ejulirwamu era nayo ne bazigoba nti temuli muzinzi ne balagirwa okusasula ebisale byonna bye basaasaanyirizza mu musango ogwo. Balagiddwa okusasula mu nnaku 21.
Aba DFCU Limited, DFCU Bank Limited, Jimmy Mugerwa, Juma Kisaame, William Sekabembe, CDC Group PLC, Norfinance AS, Rabo Partnership B.V., Arise B.V., Stephen Caley, Michael, Alan Turner, Albert Jonkergouw, Willem Cramer, Ola Rinnan ne Deepak Malik beebamu ku bagguddwako emisango mu kkooti e Bungereza mu kaweefube w’okununula US$220 Million kyokka abakugu baagambye nti ssinga Crane
Bank emaliriza okubala byonna by’eyiseemu mu musango ogwo ssente zino zandiwera obukadde 500 eza ddoola. Ekiragiro kino kyayisiddwa nga January 8, 2024 abalamuzi Lloyd-Jones, Lord Leggatt ne Burrows aba kkooti ensukkulumu abaagambye nti DFCU
terina nsonga ze yawa za muzinzi wadde nga kkooti ejulirwamu yali eggyeeko bbanka ya DFCU mu misango gyonna. Kkooti ejulirwamu yakkiriziganya n’omugagga Sudhir
n’abalala musanvu abaawaaba nti bbanka ya DFCU n’abagirinamu emigabo ssaako abagiddukanya okugula Crane Bank baakozesa obulyake obw’amaanyi nga bulimu n’abakungu abamu mu bbanka enkulu (bank of Uganda)
ey’eggwanga. Wano kkooti yawabudde nti n’abakungu ba bbanka enkulu abaali mu lukwe olwo bakwatibwe era bavunaanibwe obukenuzi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});