Sipiika Among atabaganye ne RCC Burora eyamugamba nti Palamenti agitwala bubi
Jun 07, 2025
SIPIIKA wa palamenti Anita Among atabaganye n’eyali omumyuka wa RCC mu Rubaga Anderson Burora nga bano babadde tebalima kambugu oluvannyuma lwa Burora okusonga ennwe mu sipiika nga bw’atwala obubi palamenti.
By Edith Namayanja
Journalist @New Vision
SIPIIKA wa palamenti Anita Among atabaganye n’eyali omumyuka wa RCC mu Rubaga Anderson Burora nga bano babadde tebalima kambugu oluvannyuma lwa Burora okusonga ennwe mu sipiika nga bw’atwala obubi palamenti.
Omwaka oguwedde, Bannayuganda abamu baavaayo ne batandika okukolokota Sipiika Among nga beeyambisa emikutu migattabantu nga baagala alekulire olw’ebyali bigambibwa nti bakamiisona baali baweereddwa akawumbi kamu n’obukadde 700 nga akasiimo.
Mu bayogerera sipiika ebikankana mwe mwali ne Burora ng’ono yali tasuubirwa kukola kintu kino olw’okuba nga yali munna NRM nnyo.
Leero sipiika bw’abadde asisinkanye abakulembezze okuva mu diviizoni ezikola Kampala, Burora avuddeyo mu nnamungi wa banna NRM neyetonda kyagambye nti kino kyabulungi bwa kibiina ne bannakawa basuubira okukirira mu palamenti.
Burora ategeezezza nti okutabagana kubadde kwetagisa kubanga byonna ebyali bibatabudde byagwa kati nga n’enjawulo weeri.
Burora era agambye nti teyejjusa kukola bye yakola byonna kubanga yali alabye obuzibu obwali bwetaaga okugonjoolwa wabula nga mu mbeera eno ey’oby’bufuzi eriwo buli omu yeetaaga munne nga bannakibiina.
Ye sipiika wa diviizoni y’e Rubaga, Noah Mbaziira ng’ono agambibwa okugulirira bannakibiina kya NUP ne bamulonda ku bwa sipiika asabye sipiika Among okulaba nga bannakampala babateerawo zi pulojekiti ez’enjawulo okwekulaakulanya kubanga bo tebalina ttaka waakulimira.
No Comment