Bya Daphine Semakula
Bannayuganda bangi bali mu kukungubagira eyali Munnamawulire wa Radio Uganda okumala ebbanga era munnabyabufuzi, Al-Hajji Abdul Nsereko Nsereko eyafudde mu kiro ekyakeesezza olwaleero.
Nsereko yasooka kukola ku Radio Uganda n'oluvannyuma eyafuuka Uganda Broadcasting Services (UBC) mu bifo eby'enjawulo omuli n'okuba dayirekita.
"Kitange abadde mulwadde wa ssukaali kyokka eggulo nayogeddeko naye nga mulamu bulungi era kinneewuunyisizza bwe nfuye amawulire nti afudde. Omugenzi ye yali Sipiika wa Kampala City Council (kati eyafuuka KCCA) era alese abaana 18. Taata abadde talina mukazi oluvannyuma lw'okufiirwa mukyala we (maama w'omubaka wa Palamenti) mu 2009 n'asalawo obutaddamu kuwasa,''. Omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko bwe yategeezezza mu nnaku.
Omubaka agamba nti, wajja kubaawo okusaala mu muzigiti gw'e Kibuli ku ssaawa 3:00 ez'oku makya enkya ku Lwokuna oluvannyuma omulambo gugenda kutwalibwa e Bulika mu ggombolola y'e Nama mu disitulikiti y'e Mukono okuziikibwa ku ssaawa 8:00 ezoolweggulo. .