‘Kitange Al-Hajji Abdul Nsereko teyaddamu kuwasa okuva mange lwe yafa emyaka 14 egiyise’

Bannayuganda bangi bali mu kukungubagira eyali Munnamawulire wa Radio Uganda okumala ebbanga era munnabyabufuzi, Al-Hajji Abdul Nsereko Nsereko eyafudde mu kiro ekyakeesezza olwaleero.

Omugenzi Al-Hajji Nsereko
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Al-Hajji Abdul Nsereko #omubaka #Nsereko

Bya Daphine Semakula

Bannayuganda bangi bali mu kukungubagira eyali Munnamawulire wa Radio Uganda okumala ebbanga era munnabyabufuzi, Al-Hajji Abdul Nsereko Nsereko eyafudde mu kiro ekyakeesezza olwaleero.

Nsereko yasooka  kukola  ku Radio Uganda n'oluvannyuma eyafuuka Uganda Broadcasting Services (UBC) mu bifo eby'enjawulo omuli n'okuba dayirekita.

"Kitange abadde mulwadde wa ssukaali kyokka eggulo nayogeddeko naye nga mulamu bulungi era kinneewuunyisizza bwe nfuye  amawulire nti afudde. Omugenzi ye  yali Sipiika wa Kampala City Council (kati eyafuuka KCCA) era alese  abaana 18. Taata abadde talina mukazi oluvannyuma lw'okufiirwa mukyala we (maama w'omubaka wa Palamenti) mu 2009 n'asalawo obutaddamu kuwasa,''. Omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko bwe yategeezezza mu nnaku.

Omubaka agamba nti, wajja kubaawo okusaala mu muzigiti gw'e Kibuli ku ssaawa 3:00 ez'oku makya enkya ku Lwokuna oluvannyuma omulambo gugenda kutwalibwa e Bulika mu ggombolola y'e Nama mu disitulikiti y'e Mukono okuziikibwa ku ssaawa 8:00 ezoolweggulo. .