EYALI akulira ekitavvu ky'abakozi ekya NSSF David Chandi Jamwa ayimbuddwa okuva mu Kkomera e Luzira gy'abadde akulungudde emyaka mukaaga n'alojja ennaku gy'alabidde mu Kkomera.
Jamwa nga Kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi ebadde yamusindika mu nkomyo e Luzira yebakeyo emyaka 12 oluvannyuma lw'okumusingisa omusango gw'okukozesa obubi wofiisi ye n'afiiriza gavumenti ensimbi ezisoba mu Buwumbi 3 y'omu ku Basibe abaasonyiwiddwa Pulezidenti Yoweri Museveni nga yeyambisa obuyinza obumuweebwa mu Ssemateeka.
Wakati mu Ssanyu David Jamwa,abadde omusanyufu,olwafulumye e Kkomera ly'e Luzira n'awaga wakati mu kwebaza Katonda olw'okumusesema okumuggya mu Mbuzi ekogga n'ategeeza nti ennaku eri mu Kkomera teyogerekeka.
Jamwa,agambye nti ennaku gy'alabye mu Kkomera tayinza kugyerabira olw'ensonga nti eddembe ly'okwetaaya libadde lyamuggyibwako olw'ensonga nti mu Kkomera buli kimu bakusakirawo busalizi nga n'okulaba ku bantu bo kitwala ebbanga nti era n'abo ababa bazze okulambula mu Kkomera bateekwa kusooka kuyita mu mitendera ky'agamba nti kikosa nnyo obwongo mu Kkomera.
Era Jamwa ayongerako nti abadde alumwa nnyo obulumi bungi okuwulira nti eka waguddeyo obuzibu kyokka nga talina ngeri gy'ayinza kuva mu Kkomera waliyo obuzibu omwali n'abantu ab'enjawulo mu famile okufa kyokka nga ye y'ekkomera tayinza kubeererawo bantu be kyokka n'asiima Pulezidenti Museveni okuba nti yamudiddemu nga kati agenda kuddamu okulya obutaala.

Maama wa Jamwa ng'afa essanyu
Wabula Jamwa,agambye nti ekkomera limukyusizza nnyo olw'ebintu eby'enjawulo by'alabiddeyo n'ategeeza nti agenda kuddamu atandike obulamu obupya era aweereze e Ggwanga lye nga yeyambisa obukugu bwe era neyabaza aba Famile ye ababadde bamulambula entakera ekintu ekibadde kimuzzamu essuubi wadde nga emisango egyamusibwa agamba abadde tagirinaako kakwate.
Ye Tezira Jamwa nga ono ye maama wa Jamwa olulabye mutabani we ng'afulumye e Kkomera neyebaza Katonda olw'okusala amazima n'asobozesa Pulezidenti Museveni okusonyiwa omwana we olw'ensonga nti tabadde na musango okujjako abantu abataagaliza abaamulimirira.
Bo abaana ba Jamwa ne mikwano gye,bategezza nti babadde bamusubwa olw'omukwano gw'alina eri abantu ng'ayagaliza buli muntu.