Ab’e Katooke baagala katale

ABASUUBUZI mu katale k’e Katooke mu munisipaali y’e Nansana bakukkulumye olw’akatale obutabamala ekivuddeko bangi okudda ku nguudo kiteeka obulamubwabwe mu katyabaga olw’okutomerwa emmotoka ezibeera ziyitawo.

Ab’e Katooke baagala katale
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABASUUBUZI mu katale k’e Katooke mu munisipaali y’e Nansana bakukkulumye olw’akatale obutabamala ekivuddeko bangi okudda ku nguudo kiteeka obulamu
bwabwe mu katyabaga olw’okutomerwa emmotoka ezibeera ziyitawo.

Banonga bakulembeddwaamu ssentebe w’akatale kano, Robert Ssimbwa bagamba nti abasuubuzi bangi mu kifo kino kyokka nga tekibamala ate ng’akatale ka bwannannyini ga basasula empooza mpitirivu n’emisoso emirala kwe kusaba abatwala munisipaali y’e Nansana okubazimbira akatale akatuukana n’omutindo.

Deborah Nakaliita, omusuubuzi w’amatooke asabye gavumenti ebayambe ku kabinja k’abavubuka ba ‘kasolo group’
akabateega nga bakedde okugenda okusuubula. Abasuubuzi era baasabye abaddukanya akatale okufaayo ku nsonga z’obuyonjo.