BUKEDDE W’OLWOKUSATU AKULEETEDDE EBIKULU BINO BY’OTOSAANA KUSUBWA
Tukulaze amasomero abanene gye baasomera bwe gaavuyizza mu bigezo bye PLE.
Tukuleetedde poliisi by’ezudde ku by’okutta omugagga Katanga ebyatwazizza ne nnamwandu mu kkomera.
China erabudde America ku by’okwesasuza ku Iran olwa bakomando baayo abattiddwa.
Mu Lugambo lwa Bukedde tosubwa Nameere bw’awangudde omulenzi n’amutwala mu muzikiti n’awoowebwa nga yaakamala okufaafaagana n’abamuyeeya ku bya bba.
Mu Yiiya Ssente: Tukuleetedde Abasuubuzi abatabukidde bamusigansimbi abateembeeya ebyamaguzi.
Mu Byemizannyo: Tukulaze engeri Chelsea gy’ewera okulumya Liverpool abakulembedde ekimeeza kya Premier y’e Bungereza. Tukugattiddeko n’omusimbi ogulindiridde Travis Mutyaba ttiimu y’e Misiri gw’emuteereddewo.
Gano n'amalala mu Bukedde w’Olwokusatu agula 1,000/- zokka.
