KAMUSWAGA wa Kooki, Apolo Sansa Kabumbuli owookubiri Lwampanja alagidde abakiise be ab’amagombolola n’ab’emiruka okutema empenda ez’okukulaa-kulanya Kooki nga bayita mu byenjigiriza n’ebyobulamu.
Kamuswaga yabyogedde aggulawo olukiiko lw’abakiise b’obwakamuswa-ga olwa 2024 n’agamba nti singa
Abakooki beennyigira mu byenjigiriza baakwongera okusitula embeera zaabwe. Yabasabye okwongera enkolagana ennungi wakati wa gavumenti eya wakati n’ebitongole binnakyewa kibasobozese okutuusa obuweereza obulungi ku bantu baabwe.
Yabalabudde okukomya okuwaanyisiganya ebisongoovu n’abantu be batakkiriziganya nabo mu ndowooza.
Hajji Iddi Alhmed Kiwanuka, katikkiro w’obwakamuswaga yagambye nti waakulondoola ebyogeddwa mu lukiiko.