Olutalo lwa NUP e Masaka: Aba Mpuuga batabuse n’aba Chairman Nyanzi
Feb 04, 2024
OKUSIKA omuguwa mu kibiina kya NUP e Masaka kwongedde okusajjuka, abamu ku bakulembeze b’ekibiina bwe basonze ku Chairman Nyanzi n’ekibinja kye ekya Kunga okuba n’olukwe lw’okusaanyaawo Matthias Mpuuga.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Hanipher Namuwonge ne Lawrence Kizito
OKUSIKA omuguwa mu kibiina kya NUP e Masaka kwongedde okusajjuka, abamu ku bakulembeze b’ekibiina bwe basonze ku Chairman Nyanzi n’ekibinja kye ekya Kunga okuba n’olukwe lw’okusaanyaawo Matthias Mpuuga.
Ebiwayi ebisika omuguwa e Masaka kuliko ekya Mmeeya Florence Namayanja, n’abakulembeze ba Kunga, ekya kkansala wa Nyendo - Mukungwe ku lukiiko lw’ekibuga, Alice Nanungi alamuza ekifo kya Mpuuga, kwossa n’ekiwayi kya Mpuuga, ekirimu omubaka Abed Bwanika (Kimaanya – Kabonera), ne Juliet Kakande (mukazi/Masaka City).
Enteekateeka ya Kunga ereese akanyamberege e Masaka, yava mu ofiisi ya Ssaabakunzi wa NUP, Fred Nyanzi Ssentamu, n’ekigendererwa eky’okusakira ekibiina abawagizi abapya. Wabula ensonda mu bukulembeze bwa NUP e Masaka zigamba nti aba Kunga bakozesebwa abamu ku bakulu mu kibiina abatuula ku kitebe e Makerere - Kavule, abaagala okumenya Mpuuga ebiwawaatiro, nga batya nti yandyesimba ku ‘Bobi Wine’ mu kibiina.
LWAKI KUNGA YAWEREDDWA E MASAKA
Wakati mu kusika omuguwa okugenda mu maaso e Masaka, Mpuuga yatuuzizza olukiiko lw’abakulembeze ba NUP ku Ever Green Hotel mu kibuga Masaka, okuva ku miruka ppaka ku lukiiko olwa waggulu, ne basalawo okuyimiriza emirimu gya Kunga e Masaka nga bagamba nti yava ku mulamwa.
Abakulembeze bagamba nti NUP ejjudde mu Masaka era abantu baagikkiriza nga Nyanzi tamaze kutwalayo Kunga, nga kuba kutabula na kwonoona biseera ate okufuna abantu abapya nti bakunge abantu beegatte ku NUP. Abakulembeze ba Kunga e Masaka nabo bammemba b’ekibiina bagamba nti tebamanyikiddwa gye bava, nga balinga bamasinale abaaleetebwa okubaako misoni gye baggusa.
Era balumiriza aba Kunga okutambulanga mu bantu nga boogerera abakulembeze abaliko amafuukuule n’okubavuma, nga bagezaako okuyisaawo bo be bawagira.
Omuwandiisi wa NUP mu Masaka City, Joseph Kasirye, agamba nti bamaze ebbanga nga bafuna okwemulugunya okuva mu bakulembeze ku nkola y’emirimu eya bakakuyege ba Kunga be balumiriza okubapeekanga ensimbi era ng’oyo atazibawa bamuvumirira mu kitundu ssaako okumutiisatiisa nga bw’atagenda kuddamu kuweebwa kaadi ya kibiina mu kulonda okuddako.
Chairman Nyanzi
Ensonga endala gye beesigamako, be bakulembeze ba Kunga e Masaka nga ne Namayanja mwali, okutandika okutambula n’abantu abaagala okwesimba ku bakulembeze ababaddewo. Eky’okulabirako, Namayanja ng’ali wamu n’abakulembeze ba Kunga tebaggwa ku mikolo gya Gyaviira Ssebina Lubowa ayagala okwesimba ku Mpuuga.
Era be bantu be bamu, abatembeeta Patrick Kuteesa, ayagala okwesimba ku Abed Bwanika mu Kimaanya – Kabonera. Wano abakulembeze ba NUP abakkiririza mu Mpuuga, we bava ne bagamba nti enteekateeka ya Kunga yaleetebwa e Masaka n’ekigendererwa ky’okukuba Mpuuga, n’ababaka abamukkiririzaamu, kubanga mu kifo ky’okutwala Kunga mu bitundu NUP gyetali, ate basinze kugitwala Masaka, mu bitundu ebyanunulwa edda aba NUP.
OLUTALO NE NAMAYANJA
Mmeeya Namayanja mu kiseera kino talinnya mu kimu n’omubaka Dr. Abed Bwanika ng’entabwe eva ku Bwanika okuwalabulanga Namayanja ng’amulumiriza okwenyigira mu mivuyo gy’okunyakula eby’obugagga by’ekibuga Masaka.
Era Namayanja bamuvunaana olw’okukuuma ekibiina kya NUP nga kyebase, olw’obutatuuza nkiiko za kibiina n’okusalawo ensonga ezikwata ku kibiina nga teyeebuuzizza ku bakulembeze banne. Juliet Kakande naye yatabuka ne Namayanja ng’entambwe eva ku kibangirizi kya Children’s Park, ekigambibwa nti Namayanja wadde si ye yatunda ekifo kino, naye ate yali awolereza eyakigula ate nga yakigula mu ngeri ya kifere.
Waliwo n’ebigambibwa nti abakulembeze ba NUP abamu ku kitebe, baatandise okuluka misoni ey’okugoba Mpuuga ku kifo kya ssentebe wa NUP mu Buganda, nga baagala okumusikiza Namayanja, abantu b’e Masaka baleme kunyiiga nnyo. Mu lukiiko Mpuuga lwe yatuuzizza, abakulembeze ba NUP, baabadde basembye Namayanja agobwe ku kifo kya ssentebe wa NUP e Masaka, olw’emivuyo gy’okwetaba n’aba Kunga, kyokka Mpuuga n’akigaana ng’agamba nti si ke kaabadde akadde akatuufu okugoba abakulembeze wakati mu busungu.
ABA KUNGA BAJEEMEDDE ABAKULEMBEZE
Abakulembeze ba Kunga e Masaka nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe, Muhammad Bukenya amanyiddwa nga Katugga, baweze nga bwe batagenda kugondera byasaliddwaawo bukulembeze bwa NUP e Masaka kubanga tebabalinaako buyinza.
Katugga agamba nti obukulembeze bwe bwava mu ofiisi ya Nyanzi era ye yekka asobola okumuyimiriza ku mulimu gwe yamukwasa, ogw’okulaba ng’ebifo ebitono NRM bye yawangula e Masaka, ekibiina kibyezza. Ebyasaliddwaawo ba Mpuuga agamba tebimukwatako!
Ye Fred Nyanzi Ssentamu yawakanyizza ebyogerwa nti Kunga yagitandika kulwanyisa bakulembeze n’agamba nti omulimu gwabwe omukulu gwa kuleeta bammemba abapya mu kibiina, nga bayita mu kubakunga.
Yagambye nti waakuwaayo obudde okunnyonnyola abakulembeze ku nteekateeka eno.
No Comment