Anifa Kawooya yeeyuzizza n’omubaka Begumisa e Ssembabule
Apr 16, 2025
ABABAKA, Anifa Kawooya akiikirira Mawogola West era nga minisita, kata agwe mu malaka omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Ssembabule, Mary Begumisa.

NewVision Reporter
@NewVision
ABABAKA, Anifa Kawooya akiikirira Mawogola West era nga minisita, kata agwe mu malaka omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Ssembabule, Mary Begumisa.
Obutakkaanya bwa bano obuludde, bweyolese wiiki eri ku misinde gya Kabaka.
Ku makya, Kawooya ne Begumisa buli omu yasoose kugabira bawagizi be mijoozi era
ng’omwami wa Kabaka ow’essaza ly’e Mawogola, John Kankaka Muteesa yasimbudde ebibinja bibiri eby’emisinde.
Olweggulo, Kawooya yabadde ategese olukung’aana ggaggadde ku Lwebitakuli Seed School okwongera okuttukiza enjiri ya NRM n’okunoonyeza Pulezidenti Museveni
obuwagizi mu Buganda.
Begumisa n’abawagizi be baasoose kubasibira ku mulyango, okutuusa minisita Haruna Kasolo ne Twaha Kagabo bwe bazze ne bakkakkanya abaserikale ne bakkiriza Begumisa ne banne okuyingira.
Kawooya olwalabye Begumisa n’amubuuza n’obukambwe; “Ggwe ononye ki ku mukolo gwange? Nja kukukuba, genda otegeke omukolo gwo…..”.
Abawagizi ba Begumisa tebaabawadde weema we batuula era n’okulya baavuddewo ne bagenda mu maka ge agasangibwa ku kyalo kye kimu. Obutakkaanya bwabwe bwatandika oluvannyuma lwa Wilberforce Begumisa (bba w’omubaka Begumisa) okulangirira nga bw’agenda okwesimba ku bubaka bwa Mawogola West mu kalulu ka 2026.
Mu kwogera, minisita Kasolo yeewuunyizza okusika omuguwa okuli mu bakulembeze bano abatavuganya ku kifo kye kimu n’agamba nti kino kigootaanya empeereza ya Gavumenti mu bantu ba bulijjo.
Yasoomoozeza bba wa Begumisa, nti okubeera ow’amaanyi tekimwetaagisa naye kubeera mubaka nti kuba mukyala we okuba omubaka wa Palamenti,
naye nga omwami aba yafuuse wa maanyi. Yawagiddwa minisita w’ebyamasannyalaze, Ruth Nankabirwa naye eyavumiridde obutakkaanya obwayoleseddwa.
Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga) yagambye nti obutakkaanya bwe yalina ne Kawooya bwaggwaawo era batambula bumu n’asaba abantu okuwagira Pulezidenti Museveni ne NRM.
Begumisa yategeezezza Bukedde bw’amaliridde ne bba okusuuza Kawooya ekifo. Yayongeddeko nti omukolo ogwo Kawooya kwe yasiibulidde ab’e Mawogola West kuba ayinza obutafuna mukisa mulala.
No Comment