Aba Taxi baweze nga bwebatagenda kugondera bibonerezo ebiri mu tteeka ly'ebidduka  eppya

May 05, 2025

ABAKULIRA ekibiina kya UTOF ekitwala omulimu gwa takisi mu ggwanga baweze nga bwe batagenda kukkiriza bibonerezo bipya ebyaleteddwa ku nkozesa y’e nguudo olw’okuba waliwo abantu ba ssekinoomu abagenda okubifunamu.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAKULIRA ekibiina kya UTOF ekitwala omulimu gwa takisi mu ggwanga baweze nga bwe batagenda kukkiriza bibonerezo bipya ebyaleteddwa ku nkozesa y’e nguudo olw’okuba waliwo abantu ba ssekinoomu abagenda okubifunamu.

“Omuntu yenna ali amebega w’okunyigiriza bannayuganda abakozesa ebiduuka ku nguudo ng’awagira kampuni yaba Russia ekola nnamba za digital eya [ITMS] okwenyigira mu mulimu gw’okukuba ebipapula ku nguudo ng’ate kimanyiddwa nga baggya kunyweza bya kwerinda ku nguudo omuli n’obuttemu nga bakozesa kammera zino ekyo kibeera kikyamu” Ssentebe wa UTOF Rashid Ssekindi n’omumyuka we Musitafah Mayambala bweyategezezza

Ssekindi yagambye nti tebawakanya gavumenti kukozesa kkamera z’oku nguudo okulwanyisa abavuga endiima n’okukuba ebittaala nga bakozesa kammera naye bawakanya enkola empya eyaleteddwa ey’okwongera ebibonerezo ssaako n’okukendeza ennaku ezirina okusasulirwamu ebipapula bino.

  Bino aba takisi babyogeredde mu lukungaana aba minisitule ey’ebyenguudo lwe babayissemu ku offiisi zabwe e Kyambogo eggulo baabasomese ku nkola empya ey’ebibonerezo bye baleese singa omuntu abeera avuze endiima gattako okukuba ebittaala.

  “Omusango gw’okuvuga endiima ssaawa zino bwebakukwata osasula emitwalo 200,000/- era zonna zitwalibwa gavumenti kyokka mu nkola empya avuga endiima bwanakwatibwako ng’ayisizzaamu sipiidi 31 kwezo z’alina okuvuga alina okusasula 600,000/- kyokka nga kuno gavumenti efunako ebitundu 20 ku 100 zokka”Ssekindi bweyategezezza.Enkola enkadde omuntu abadde aweebwa ennaku 28, zalina okusasuliramu ekipapula kino naye nga weesanga nga bangi balemererwa kyokka mu nkola empya bayongezza ssente okutuuka ku 600,000/- ate omuntu ne bamuwa ennaku sattu zokka, ze ssaawa 72  ekintu ekitali kituufu.

Oyinza okwewunya nti lipoota ya poliisi eraga nti abantu abasinga okufa omwaka oguwedde ebitundu 70 ku 100 baali ba boda kyokka mu tteeka epya aba bboda teri abanyegaako nti babonerezebwe.

Aba  takisi bavudde mu lukungana luno nga  bawandikidde minisita w’ebyentambula Gen. Katumba Wamala nga bamusaba obutateeka mukono ku tteeka lino eppya gavumenti lye eyagala litandfike okukola mu  May/16/2025 Pulezidenti lw’agenda okutongoza enkozesa ya nnamba za digito.

ETTEEKA LY’EBIDUUKA EPYA KYE LIGAMBA.

Judith Karara avunaanyizibwa okulondoola enkozesa ye nguudo mu minisitule y’ebyentambula  yagambye nti mu tteeka eppya bagenda kukozesa kkamera okukuba ebipapula.

 Mu  bifo omuli amassomero, amalwaaliro tokkirizibwa kuvuga sipiidi zisukka 30, mu bubuga wakati tosukka sipiidi 50 ate ku nguudo mwasa njala [High way] tosukka 80 nga bw’ozisukka olina okufuna ekipapula.

                Omuntu yenna anasussa  sipiidi 30 mwezo z’olina okuvuga ekipapula ojja kukubwanga kya 200,000/- kyokka bw’onasusa ngamu sipiidi mwezo z’olina okuvuga ne ziyingira 31 n’okugenda waggulu ku luguudo lwonna nga kammera oba abasirekale b’oku nguudo bakukuba ekipapula kya 600,00/- ate fayine eno tolina kususa sattu

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});