Julia Sebutinde alondeddwa okumyuka pulezidenti wa kkooti y'ensi yonna
Feb 07, 2024
OMULAMUZI wa Uganda, Julia Sebutinde alondeddwa okubeera omumyuka wa kkooti y'ensi yonna etaawulula obutakkaanya wakati w'amawanga eya International Court of Justice (ICJ).

NewVision Reporter
@NewVision
OMULAMUZI wa Uganda, Julia Sebutinde alondeddwa okubeera omumyuka wa kkooti y'ensi yonna etaawulula obutakkaanya wakati w'amawanga eya International Court of Justice (ICJ).
Sebutinde azze mu bigere by'omulamuzi wa Russia, Kirill Goratsiyevich Gevorgian ng'ekisanja kye kya kumala emyaka esatu(3).
Ono alondeddwa ne Pulezidenti wa kkooti eno omuggya, Nawaf Salam enzaalwa y'e Lebanon.
"Omumyuka wa Pulezidenti wa kkooti eno akola mu mbeera nga pulezidenti taliiwo, mu mbeera nga pulezidenti teyeeyinza kukola, oba ng'ekifo kya pulezidenti kikalu," ICJ bwe yategeezezza.
Okulondebwa kwa Sebutinde kujjidde mu kaseera nga yaakalaga ensi ensalawo ye eyayawukanye ku banne ku nsonga z'olutalo l'e Gaza wakati w'abakambwe ba Hamas ne Yisirayiri mu musango ogwatwalibwayo bannamateeka okuva mu South Africa.
Ku balamuzi 17 aba kkooti eno, Sebutinde yekka ye yayawukanye ku banne ku biteeso mukaaga ebyabadde bireeteddwa balooya b'e South Africa omwabadde n'okugamba nti Yisirayiri ky'ekola e Gaza, kittabantu ekiwedde emirimu.
Sebutinde abadde mmemba mu kkooti eno okuva nga February 6, 2012, nga ye mulamuzi omukazi Omufirika eyasooka mu balamuzi ba kkooti ya ICJ.
Nga tanneegatta ku kkooti eno, Sebutinde yasooka kubeera mulamuzi mu Kkooti ey'enjawulo (Special Court) ey'e Sierra Leone okuva mu 2005 okutuuka mu 2011.
Sebutinde yazaalibwa mu February 1956 ng'ali mu kisanja kye ekyokubiri mu kkooti ya ICJ.
Okusoma yakutandikira mu Lake Victoria Primary School e Ntebe oluvannyuma ne yeegatta ku Gayaza High School. Yatikkirwa Diguli mu by'amateeka mu Makerere University mu 1977, ku myaka 21!
Mu 1990, nga wa myaka 34, yagenda e Scotland n'asomerayo Diguli eyookubiri mu mateeka mu University of Edinburgh. Ono era yamutikkira Diguli eyookusatu (PhD) mu 2009.
No Comment