Eyali Ssaabalamuzi Katureebe atongozza ekitabo ekikwata ku bulamu bya munnamateeka John Katende owa Ebonies
Jul 10, 2023
Libadde ssanyu jjereere ng’eyali Ssaabalamuzi Bart Katureebe atongoza ekitabo ekikwata ku bulamu bya munnamateeka omukukuutivu Owekitiibwa John Winston Katende olwaleero.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Farooq Kasule ne Daphine Nakalyoowa Semakula
Libadde ssanyu jjereere ng’eyali Ssaabalamuzi Bart Katureebe atongoza ekitabo ekikwata ku bulamu bya munnamateeka omukukuutivu Owekitiibwa John Winston Katende olwaleero.
Ng'omusajja omuyivu ddala, Katende y'omu ku baatandikawo kkampuni ya Bannamateeka eya Katende, Ssempebwa ne Company Advocates mu 1969 ng’ali ne munne Frederick E. Ssempebwa.
Katende, munyenye mu by'amateeka n'emizannyo gya katemba egya Ebonies gye yatandikawo mu 1977 era bazannye emizannyo nga; That’s Life mwattu omwali Nakawunde, Bibaawo n’emirala mingi.
Ekitabo Ekirimu Ebikwata Ku Owekitiibwa John Katende Ekitogozeddwa Olwaleero.
Margaret Ne Bba John Katende Ku Mukolo
Munnamateeka ono akoze ebintu bingi ebigasa eggwanga naye ng'ate muntu ateeteeka mu butaala oba kiyite okwemulisa era era bangi temanyi nti ali mabega w’ebintu bingi omuli n’ekibiina kino ekya Ebonies.
Tekyewuunyisa nti okuwandiikibwa kw'ekitabo kino ekiyitibwa John W. Katende "The Man of Many Firsts", ekivvuunulwa nti ‘Omusajja ow’ebitone eby'enjawulo’ kwasikiriza abantu ab'enjawulo okuva mu bannamateeka n’abalala bangi.
Katureebe ng'atongoza ekitabo kino ku Aristoc Bookshop ku Acacia Mall mu Kampala olwaleero, asiimye Owekitiibwa Katende olw'okubeera mu bulamu obwegombebwa era obukyusizza n’abalala bangi.
Omuwandiisi W'ekitabo Kino Ronald Nabimanya Ng'assaako Omukono Gwe, Abalala Nga Bamutunuulidde.
“Owekitiibwa ono yali musomesa wange e Makerere naye nneegomba nga nnyo ensomesa ye. Obutafaananako n’abasomesa abalala bwe yambanga atusomesa kyali kizibu nnyo okusumagira. Era ng’akuyita nti 'Katureebe tuwe ansa' yalabanga olwawo ate n’alonda omulala. Era bwe twali tusoma twakimanyako nti alina kkampuni ne munnateeka Ssempebwa ng’eno erimu omuziki n’ebwennyanja obulamu obusanyusa okulaba. Naffe bwe twakola offiisi ezaffe ne tumukoppa.
Ekitabo kino ekyawandiikiddwa Ronald Nabimanya, kijjudde omulimu ogw'ettendo munnamateeka ono gwakoze, era kijja kusikiriza abasomi bangi okukyettanira.
Ng’ayogera ku mukolo guno Owekitiibwa yeebazizza Kabaka Ronald Mutebi olw’okumusiima n’awandiika mu kitabo kye kino, mukyala we Margaret, ffamire ye wamu ne mikwano gye.
Munnamateeka Sim Katende, Ng'ayogera Ku Kitaawe John Katende
Ebitonotono ku Owekitiibwa John katende
l Amateeka yagasomera Dar-es-Salaam University mu Tanzania
l Yasomesa emyaka mingi mu Makerere University
l Mu 1977, yatandikawo ekibiina ky'emizannyo kati ekiyitibwa "The Ebonies" ekyakula ne kifuuka ekibiina ky'emizannyo ekisinga obunene mu East Africa okutuusa kati.
l Ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM) bwe kyawamba obuyinza, Katende y'omu ku baateesa eky'okukomyawo Omulangira Ronald Muwenda Mutebi eyatuuzibwa ku ntebe ye nga Kabaka wa Buganda owa 36 mu 1993.
Polof Fredrick Ssempebwa Ng'ayogera Mu Kutongoza Ekitabo Kya Munnamateeka John Katende.
l Abadde mu bifo eby'enjawulo nga Dayirekita oba nga Ssentebe w'obukiiko bw'amakampuni amanene ag'omu ggwanga n'ag'amawanga amangi. Okumala emyaka egisoba mu 13 (13) John yali ssaabawaabi wa gavumenti ow'ekitiibwa era omuwabuzi omukulu ow'eby'amateeka mu Bwakabaka bwa Buganda ne Ssaabasajja Kabaka wa Buganda. Era yali ssentebe w'akakiiko akanoonyereza ku ssemateeka wa Buganda.
l John yaweebwa ekitiibwa eky'okulayiza Omulangira Mutebi ng'atuuzibwa mu butongole nga Kabaka wa Buganda, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ku ntebe ye nga 31 July, 1993.
Ven Dr.dan Kajumba Ng'ali Mukolo Gw'ekitabo Kya Mukwano Gwe.
l John yaweebwa 'Ekitiibwa ky'efumu n'engabo', Kabaka wa Buganda mu 2011 olw'ebirungi by'akoledde Obwakabaka. Kino kye kitiibwa ekisingayo obulungi ekiyinza okuweebwa olw'obuweereza obulungi mu Bwakabaka bwa Buganda.
l Nga March 31, 2017, John yasiimibwa ekitongole kya Uganda Law Society (ULS) era n'aweebwa ekirabo kya ULS ekisooka ekya 'Distinguished Service Award' mu lukiiko lwa Uganda Law Society olwali mu Entebbe, Uganda nga March 31, 2017.
lYe yaleeta ekirowoozo ky’okuggyawo okuwanikibwa ku kalabba era n’ekissibwa mu nkola.
l Ye Munnamateeka wa Uganda eyasooka okusoma mu Harvard University y'omu America bweyali akola diguli ye eyookubiri mu byamateeka.
Eyali Ssaabalamuzi Bart Katurebe Nga Yeebaza John Winston Katende Ate Nga Prof Fredrick Ssempebwa Abatunuulira.
Mu basomesezza mwe muli bano:
Ssaabalamuzi, Hon. Bart Katureebe
Sipiika wa palamenti, Rebecca Kadaga
Omulamuzi mu kkooti ey’oku ntikko Alfred Karokora. N’abalamuzi abalala okuli: Amos Twinomujuni, Constance Byamugisha, Steven Kavuma, Augustine Nshimye, omugenzi Stella Arach Amoko, Moses Mukiibi, Edmund Sempa Lugayizi, Lamech Nsubuga Mukasa, Ibanda Nahamya (Mu kiseera kino omulamuzi w'ekitongole ky'ensi yonna ekya International Residual Mechanism for Criminal Tribunals (Mechanism).
Abalala kuliko: Vincent Kibuuka Musoke, Atwoki Rugadya, Margaret Oguli Oumo, Ralph Ochan, Vincent Zehurikiize, Julia Sebutinde, (Mu kiseera kino omulamuzi mu kkooti y'ensi yonna) , Khiddu Makubuya, Peter Kabatsi. Bannamateeka Hon Medi Kaggwa, Livingstone Ssewanyana, Hon. Maria Matembe n’abalala bangi.
EBIFAANANYI BYONNA BYA MPALANYI SSENTONGO
No Comment