Atandika okuzimba sooka weetegereze bino oleme kwejjusa

Feb 11, 2024

ABANTU bangi balemeddwa okutandika okuzimba n’okumaliriza bye baatandikaolw’ensobi ezaakolebwa ze bataamanya wadde ng’olumu ne ssente baazirina.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

ABANTU bangi balemeddwa okutandika okuzimba n’okumaliriza bye baatandika
olw’ensobi ezaakolebwa ze bataamanya wadde ng’olumu ne ssente baazirina.
Joel Batambuze ow’e Wantoni e Mukono y’omu ku beevuma 2023 olw’okulemererwa
okumaliriza ekizimbe kye yali asitudde.
“Natandika bulungi okuzimba mu November nga mmanyi we tunaatuukira mu January nja kuba nnina we ntuuse.
Olwokuba nnali nkolera Rukungiri ssente naweerezanga mukyala wange nga bwe bagula ebintu ng’omusenyu, amatoffaali n’amayinja nga bayiwa ku sayiti.
Tebaafaayo ku bya bukuumi bya bizimbisibwa, ab’ekyalo ne bagufuula mugano okusenangako nga bwe baagala.
Omusenyu ogwasigalawo enkuba yagukuluggusa era bwe nakomawo katono amaziga gampitemu nga ndaba ssente ze nali nterekedde ebbanga zifudde. Nkyanoonya gye naggya ssente endala” Batambuze bwe yannyonnyodde.
ABAKUGU BAYAMBIRA WA?
1Omukubi wa pulaani z’amayumba, Muhammad Nsereko agamba nti waliwo ebizimbe bingi bye baddamu oluvannyuma lw’okukizuula nga bwe baali basima omusingi gwa kalina tebaafaayo kusooka kwetegereza bugumu bwa ttaka. Ettaka erimu si gumu era okulizimbako balina okuba n’entegeka ey’enjawulo.

2Ebiwandiiko byonna ebyetaagisa ebiraga obwannannyini ne pulaani z’ekizimbe birina kufunibwa ng’okuzimba tekunnaba. Abakwasisa amateeka bayimiriza ebizimbe bingi lwa butaba na pulaani ekakasiddwa. Abamu n’emitendera babeera baagitandikako naye nga baagala bwangu. Ekiva mu kino bye bizimbisibwa okwonooneka.

3Obutasooka kukola kunoonyereza kumala ku mbeera y’ekifo nakyo kya bulabe. Kibeera kikyamu okulowooza nti embeera z’abantu ze zimu. Baliraanwa woozimba bayinza okuba ababbi ab’olulango ng’olina okubasalira amagezi nga bukyali. Waliwo eyagula poloti ku lw’e Busaabala mu 1992, eyawalirizibwa okugitunda oluvannyuma lw’okukizuula ng’emmanju waaliyo essabo ng’ensaasi zisula zivuga”. Obutakuuma biwandiiko bya bintu ebiba bikoleddwa ne ssente ze bitutte nakyo kirimu obulabe. Kino kye kijja okukuyamba obutaddamu kusaasaanya nsimbi ku bintu by’obeera wakola mu maaso n’obutabbibwa.
4Okukozesa abazimbi abalina obukugu. Nsereko agamba nti kya bulabe okukozesa abazimbi ab’ekibogwe kuba basobola okukutamya ennyumba n’ogivaako wekka nga buli ajja akubuuza bye wazimbye.
Oluusi babeera tebaseera naye nga bye bakola bakubirira bikubirire n’okugeta.

5Azimba olina okubeera n’ekifaananyi ky’ennyumba gy’oyagala okuzimba mu mutwe gwo. Kino omukubi wa pulaani kyakuyamba okutuukiriza. Buli lw’otaba nakyo kyangu okukuggya ku mulamwa n’okukyusa by’ozimba buli kadde ng’ogendera ku magezi g’abalala oluusi ne by’oba olabye gy’oyitidde. Obuzibu bwa kino kivaako okumenya buli kadde n’okutwala ssente ennyingi.
Ky’olina okumanya si buli ky’olaba ku nnyumba endala ezaanyuma nti kirina okubeera ne ku yiyo.
Bw’oba oyagala kukyusa mulina kukikolera ku pulaani n’omukubi wa pulaani y’ennyumba so si nga mutandise okuzimba. Bw’obaako ky’olabye ekiteewalika olina kusooka kuddira eyakuba pulaani.
Bajeti yo okuba nga tekwatagana na kika Kya nnyumba gy’oyagala. Fred Nalumoso ow’e Kyengera agamba nti yalina ekirooto ky’okusula mu kalina. Bwe yafuna obukadde 50 yakyamuka ne batandika omusingi gwa kalina. “Ssente zanzigwako nga ne shiraabu tewedde, kuba nali nsitudde ennyumba nnene. Ennyumba entunuulidde era nnejjusa nti singa nazimba eya bulijjo singa nayingira dda” Nalumoso bw’agamba. Yagasseeko nti omuntu okuzimba olina okwewala n’okulowooza nti osanyusa balala. Agamba zimba ennyumba egya mu nfuna yo si esanyusa abalabi. Okukozesa obubi ettak  kireetedde bangi okwejjusa n’okumenya bye baazimba.
Yinginiya Vincent Luswata owa LLL Construction Consultants agamba nti omuntu ne bw’obeera tolina ssente mu kiseera kino olina okutegeka obulungi pulaani y’ekifo. Okugeza poloti bw’ebeera ya ku kkubo ng’osuubira okussaawo emizigo mu maaso, tewali nsonga lwaki emizigo ebiri egy’okusulamu ogissa ku mugguukiriro. Pima bulungi omanye w’oliteeka amaduuka n’enkulaakulana endala mu maaso nga paakingi. Olwo emizigo egy’okusulamu ogisse ewataakukose. 6Obutaba na bugumiikiriza ng’ozimba. Wadde nga kirungi okumaliriza mu budde kyokka ate bw’opakuka ennyo kisobola okukosa omutindo gw’ekizimbe.
 Waliwo ebifo ebyetaaga obudde okusobola okudda ku kirala. Bw’opakuka ennyo oyinza okufiirwa ekizimbe kyonna. 7Faayo okumanya omutindo gw’ebizimbisibwa n’ebbeeyi yaabyo.
Hajji Sulaiman Katende ow’e Bujuuko ku lw’e Mityana agamba nti abazimbi babba
nnyo omuntu naddala bwe bakimanya nti y’ennyumba gy’asookeddeko. Ng’oggyeko okukuseera kyokka era basobola n’okukuguza ebintu ebitali ku mutindo nga bagenderera okwawula.

Bwe bakubuulira ekika ky’amayinja ekyetaagisa, babuuze bwe gafaanana ogezeeko okwezuulira ebbeeyi. Bw’otofaayo kyangu ssente ezandikumaze okukomerera ennyumba, okukukomya ku bbiimu. 8Tewali kintu kitawaanya ng’omuntu okulowooza nti okuzimba olina kusooka kukung’anya ssente za wamu. Ekikulu kasita omala okugula poloti osobola okutandika mu mbeera yonna ne bwe gubeera misingi, okuggyako ng’olina woosuubira ssente eza wamu. Ekikulu kutandika n’ekitono ekiriwo lw’ojja okutuukiriza ekirooto ekinene mu maaso.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});