Poliisi ekyanoonya abaagwiriddwa ekizimbe eggulo e Buziga
Jun 16, 2025
EKIKWEKWETO ky'okunoonya abantu ekizimbe be kyagwiridde e Buziga mu Kampala, kikyagenda mu maaso.
By Godfrey Kigobero
Journalist @New Vision
EKIKWEKWETO ky'okunoonya abantu ekizimbe be kyagwiridde e Buziga mu Kampala, kikyagenda mu maaso.
Kino kiddiridde poliisi okuzuula omulambo gw'omuntu omu n'omulala akyali omulamu omu, eyaggyiddwayo eggulo n'atwalibwa mu ddwaaliro.
Abaserikale nga bakola butaweera okunoonya abantu. (Ekifaananyi kya Benjamin Ssemwanga)
Ekizimbe kino, kyagudde ggulo era nga kisuubirwa nti wansi , wakyaliyo abantu abayinza okuba nga bakyali balamu.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti , bakyegenda mu maaso n'okunoonya mu mafunfugu okuzuula abalala.
Related Articles
No Comment