Omulamuzi kkooti agenda kugituuliza ku mmaali ya bmk
May 08, 2025
OMULAMUZI Samuel Kagoda Ntende owa kkooti enkulu ekola ku byettaka asuubirwa olwaleero okutuuza kkooti ku mmaali ya BMK ekaayanirwa abaana b’omugagga Godfrey Kirumira abazzeemu okugiwamba. Okusalawo okutuuza kkooti ku kizimbe ekikaayanirwa, omulamuzi Ntende yakisazeewo oluvannyuma lw’omusajja Dan Meshack Okware eyagula emmaali ya BMK eri ku bbulooko 273 poloti 46 e Buziga okuddayo mu kkooti ng’ayagala okuyimiriza okussa kunkola ekiragiro ekyaddizza famire ya BMK ekizimbe kyabwe ekiri ku bbulooko 273 poloti 44.

NewVision Reporter
@NewVision

Kino kyali kuwambiddwa abaana ba Kirumira: Gideon Kirumira ne Brenda Kirumira abagambibwa okugula ku Okware.
Mu lutuula lwa kkooti ku Lwokubiri, Looya Francis Kabali Sebbowa eyakiikiridde Okware etaabaddewo mu kkooti yataddeyo okusaba ng’ayagala ekiragiro
omulamuzi Ntende kye yassaako kiyimirizibwe, kyokka kino kyawakanyiddwa looya
George Muhangi eyakiikiridde Ali Muwanga (omusika wa BMK) ne David Mugume abaawawabiddwa Okware. Muhangi yategeezezza omulamuzi nti ekiragiro kyaggwa
dda okussibwa mu nkola nga noolwekyo tekikyalina makulu
okuwuliriza okusaba kwabwe.
Wano omulamuzi kwe kusalawo nti olwaleero ku Lwokuna lw’agenda e Buziga ku ttaka
eryogerwako azuule ekituufu n’oluvannyuma awe ensala ye.Bino we bijjidde nga ku Lwokuna oluwedde, RCC wa Kampala Jane Muhiindo yasomye ekiragiro kya kkooti ekiddiza ffamire ya BMK ekizimbe kyabwe ekiri ku poloti 44 ekyali kiwambiddwa
wabula nga kino RCC yakikolera wakati mu lutalo olw’amaanyi, omwali bakifeesi okusalako ebizimbe byonna munda ne batandika okukanyugira aba famire ya
BMK amayinja nga tebabaganya kusemberera bizimbe we biri.
Aba famire ya BMK baategeezezza nti n’eggulo ku Lwokusatu, bakifeesi abasoba mu 100 nga balina n’embwa bazzeemu okubakolako effujjo ne bonoona ebintu
n’okugoba aba ffamire mu kizimbe kyabwe ku poloti 44 abaana
ba Kirumira kye baagala okutwala sso nga tekiriiko nkaayana zonna
No Comment