Ekiri e Vaticanmu kulonda Paapa

KU ssaawa 12 n’eddakiika 45 ez’akawungeezi k’eggulo, Kalidinaali eyakulidde omutendera gw’okulonda Paapa ogusembayo, yakozesezza ebigambo ‘Extra omnes,’ eby’Olulatini ebitegeeza nti, buli omu afulume.

Bakalidinaali nga balayira okusirikira byonna ebigenda okubeera mu kulonda Paapa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

KU ssaawa 12 n’eddakiika 45 ez’akawungeezi k’eggulo, Kalidinaali eyakulidde omutendera gw’okulonda Paapa ogusembayo, yakozesezza ebigambo ‘Extra omnes,’ eby’Olulatini ebitegeeza nti, buli omu afulume.
Ekyaddiridde, buli muntu wabulijjo ne bw’aba yabadde Kalidinaali asukka emyaka 80, yafulumye Klezia ya Sistine Chapel entongole omulonderwa Paapa.
Abaabadde bafuluma be bayambi ba Bakalidinaali 133 abaggaliddwa mu Klezia eyo.
Baabadde bangi nga kumpi buli Kalidinaali alina omuyambi we.
Nabo baasoose kulayira eggulo ku makya nga buli omu akutte ku Bayibuli okukakasa nti, buli kye banaaba bawulidde, kye balabye ne bwe banaaba balumise kirumike (kubanga okulonda tebaakubaddemu), tebalibaako gwe babinyumiza mu bulamu bwabwe bwonna bwe basigazizza ku nsi.
Ekirayiro kye kimu ekisinga ne ku ky’abayambi abo, kye kyakubiddwa Bakalidinaali nga ekitali kya bulijjo, ebifaananyi ebyo nga balayira mu Klezia eronderwamu, byalagiddwa butereevu ku mikutu egy’amaanyi okwabadde BBC, CNN, Vatican News n’emirala.
Kalidinaali Pietro Parolin, 70 eyakulembedde okulonda Paapa omuggya olwamaze okulagira buli omu afulume, yaggadde oluggi lwa Sistine chapel olwo emikolo gy’okulonda Paapa ne gikwajja mu kyama.
Ebyaddiridde mu kulonda, obuwonvu n’obuddo, obwangu n’obuzibu obwabaddeyo, tewali muntu yenna alibikunyumiza era alibeera akulimbye nti yabirabako.
Ng’amaze okuggalawo n’abaafulumye nga bamaze okuddayo mu Klezia ya St. Peter’s Basilica, mmisa y’okusaba mwoyo mutuukirivu akulembere abalonzi n’abayambi baabwe mu mikolo gy’okulonda Paapa omutuufu n’etandika. Nnamungi w’omuntu eyabadde e Vatican yakutte ssappule nabo ne basumulula essaala.
Abo baabadde mu kibangirizi kya St. Peter’s Square ekikola ng’oluggya lwa Klezia ya St. Peter’s Basilica, kyokka bangi abaabadde mu ssappule ate amaaso gaabadde gabali ku kasolya ka Klezia ya Sistine Chapel ku mudumu ogufulumya omukka ogulaga ebibadde mu kulonda nga bifulumizibwa.
Abamu baabadde bawuuba bendera z’amawanga gaabwe ng’abasinga baavudde Roma eri ekinnya n’empindi ne Vatican, abalala Brazil esingamu Abakatoliki abangi mu nsi, Mexico esingamu abannyikira eddiini mu nsi n’amawanga amalala okwetooloola ensi.
Lyo eddirisa eddene eriri ku Klezia ya St. Peter’s Basilica ettongole Paapa mw’aweera omukisa ensi n’abali mu kibuga Roma, nalyo lyayooyooteddwa n’engoye empya ezaalitimbiddwa oba ziyite kateni emmyufu n’enjeru ng’era ze langi ezikola ebyambalo bya Paapa.
Nga Paapa alondeddwa n’omukka omweru ne gufuluma, ebide bya Vatican bivuga n’ebya Roma byonna obutasalako olwo Kalidinaali akulidde okulonda n’ajja ng’awerekeddwaako bafaaza babiri abakutte omusaalaba n’alangirira nti;
‘Habemus Papam.’ By’ebigambo by’Olulatini by’akozesa ebitegeesa nti, tufunye Paapa.
Bwe biggwa, Paapa omuggya alabikira mu ddirisa liri n’awa abakkiriza n’abali mu nsi yonna omukisa gwe bayita, ‘Urbi et Orbi’ ebitegeeza ‘To the city and to the world.’ Omukisa ogwo guba gutegeeza nti, guweereddwa abali mu kibuga Roma n’abali mu nsi yonna.
BAKALIDINAALI SI BAAKUFULUMA OKUGGYAKO NGA BAMAZE OKULONDA
Bakalidinaali bonna si baakuddamu kukabikkako mu bantu okuggyako nga bamaze okulonda Paapa. Bonna nga bwe baayingidde nga bambadde ebimyufu kyokka nga mulimu owa Ukraine akolera ekigye mu Australia eyayambadde ekiddugavu ku mutwe ng’ali ng’alaga akabonero k’ensi ye eri mu lutalo ne Russia, baabadde bambadde n’enkofiira zaabwe emmyufu.
Owa Turkey yenna yayambadde biddugavu ng’alaga bwe bambala ewaabwe mu nsi esingamu abasiraamu. Wadde bonna baayambadde bwe batyo, bajja kufuluma era bambadde engoye za langi y’emu nga bamaze okulonda kyokka Kalidinaali omu yekka y’ajja okufuluma ng’ayambadde enkofiira njeru n’ebyambalo ebyeru ebitegeeza obutukuvu.
Olwo oyo y’agenda okuba ng’azze mu bigere bya Paapa Francis, omwagalwa w’abangi eyafudde gye buvuddeko nga bamukazizzaako lya ‘Paapa w’abanaku’ olw’eneyisa ye ng’ayagala okubafaanana kubanga nabo bantu.