Ab'e Namayingo banjudde ebizibu byabwe ebisaanye okukolebwako obutakosa kalulu ka Pulezidenti Museveni mu kulonda okujja.
Abatuuze b’omu disitulikiti y'e Namayingo bavuddeyo ne banjula ebizibu ebibaluma bye bagamba nti baagala Pulezidenti Museveni abisalire amagezi kiyambe obutakosa kalulu ke mu kulonda kw’obwaPulezidenti w’eggwanga okubindabinda.
Abatuuze ebizibu baabiyisizza mu Ssentebe wa disitulikiti y’e Namayingo Ronald Sanya bwe babadde mu kaweefube w’okutongoza okunoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu mu disitulikiti eno.
Kaweefube ono yakulembeddwa omumyuka wa katikkiro wa Uganda asooka Rebecca Alitwala Kadaga nga yakiikiriddwa minisita w’ebyobulambuuzi mu Busoga Hellen Namutamba.
Ebivvulu byasoose kuyisibwa mu kibuga ky’e Namayingo nga Namutamba akubira Pulezidenti Museveni kkampeyini awamu n’okugabira abatuuze emijoozi gya NRM awamu n’ebipande bya Pulezidenti Museveni ebya kkampeyini.
Okuyisa ebivvulu kwetabiddwako abakulembeze ba NRM mu Namayingo, abavuzi ba bodaboda awamu n’abavubuka ba Ghetto.
Ng’ayogerako eri abantu abakung’aanidde mu maka ge ku kyalo Siyabona mu Namayingo, Ssentebe Sanya yayanjudde ebizibu okwabadde eby’amataka, eby’okutulugunya abavubi ku nnyanja Nnalubaale awamu n’obutatuukirizza byasuubizibwa kyoka nga byongera okussibwa mu manifesito ya NRM nti byakolebwako.
Ebirala kwabaddeko ekya minisitule y’ebyobulambuuzi okweddiza ettaka ly’abatuuze eriweza yiika 5500 ku kizinga ky’e Lolwe, okulima oluguudo olutandikira e Bbaale mu Mayuge – Nakivumbi - Buswale paka ku mwalo mu Namayingo oluweza kkiromita 90, okuzimba Siyabona gravity piped water scheme ng’eno yakassibwa mu Manifesito ya Pulezidenti emirundi ebiri nti yamala okuzimbwa kyokka nga tennaba.
Era abamu ku batuuze b’e Namayingo nabo balina bye basiimye Pulezidenti Museveni by’abakoledde omuli okutandikawo pulogulaamu nga eya PDM, Emyooga, Youth Livelihood n’endala ze baganyuddwamu era ne beeyama okumuyiira obululu asigale mu ntebe kuba abafuga bulungi awamu n’okukulaakulanya eggwanga.
Ye Minisita Namutamba yasoose okusisinkana abakadde ku kitebe ky’eggombolola y’e Kapyanga mu disitulikiti y’e Bugiri nga tannaba kugenda Namayingo era nabo yabakunze okuwagira Pulezidenti Museveni ne bamusuubizza nti baakumuyiira obululu awamu n’okusaba ayongere ku ssente z’abakadde ezibaweebwa buli mwezi.
Bwe yabadde e Namayingo, Namutamba yategeezezza abatuuze nti agenda kussa ensonga zaabwe mu buwandiike azikwase Pulezidenti Museveni azisalire amagezi.
Namutamba yasiimye Pulezidenti Museveni okugabira abavubuka ba Ghetto e Namayingo obukadde 100 awamu n’aba bodaboda obukadde 100 era n’asaba abavubuka ba Ghetto n’aba bodaboda okwekolamu ebibiina beewole ku ssente ezo batandikewo pulojekiti ez’okwekulaakulanya.