Amawulire

Abise bba omulamu n’atunda amaka

OMUKAZI eyajingirira ebiwandiiko bya kkooti n’afuna obwannannyini ku ttaka lya bba nga tannafa atuuyanidde mu kaguli oluvannyuma lw’abaana ba bba okumutwala mu kkooti olw’okutunda enju ya kitaabwe.

Ennyumba eyatundibwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUKAZI eyajingirira ebiwandiiko bya kkooti n’afuna obwannannyini ku ttaka lya bba nga tannafa atuuyanidde mu kaguli oluvannyuma lw’abaana ba bba okumutwala mu kkooti olw’okutunda enju ya kitaabwe.
Harriet Ssanyu Babirye 48, omutuuze wa Kigagga zzooni e Mutundwe mu Lubaga y’avunaanibwa emisango ebiri okuli; ogw’okutaataaganya ebintu by’omugenzi n’okujingirira ebiwandiiko bya kkooti.
Kigambibwa nti mu November 2022 e Mutundwe - Kigagga zzooni, Babirye yajingirira ebiwandiiko bya Kkooti Enkulu e Nakawa ku ffayiro 825/2012 n’alaga nti omulamuzi Wilson Musene yali amukakasizza okuvunaanyizibwa ku ttaka ly’omugenzi Joseph Herman Jjagwe erisangibwa ku Kibuga Mutundwe bbulooka 34, poloti 150 kyokka ng’ekiseera ekyo Jjagwe yali akyali mulamu.

Babirye mu kaguli.

Babirye mu kaguli.


Babirye teyakoma okwo, yakyusa ekyapa ky’ettaka eryo n’akissa mu mannya ge, oluvannyuma n’aliguza Johnson Bakulu Wanyana ku bukadde 150 nga yasooka kusasulwa obukadde 100 era akyabeera mu nnyumba eno okutuusa ng’aweereddwa obukadde 50 asenguke.
Omusango guli mu masso g’omulamuzi Adams Byarugaba owa kkooti ya Nateete - Lubaga Mengo. Omu ku baganda b’omugenzi Jjagwe, Charles Njuba Nsimbe yategeezezza Omulamuzi engeri bino byonna gye byatuukawo abaabaddemu ne bawuniikirira!
Njuba yategeezezza nti, oluvannyuma lwa mukazi wa Jjagwe omukulu okugenda mu America mu 2016, yasalawo okuleeta Babirye awaka ng’amuggya mu muzigo gye yali yamupangisiza, kubanga nti yali amulinamu abaana basatu, wabula bwe yagayingira ebizibu ne bitandika.
Oluvannyuma lw’emyezi ebiri, Jjagwe yalumbibwa obulwadde obwamuziba omumwa n’afa mu December 30, w’omwaka ogwo nga yafiira mu ddwaaliro e Mengo.
Tebaakitwala nga kikulu okutuusa mu November 2023 bwe baategeera nti, amaka g’omugenzi Jjagwe gaatundibwa kwe kusitukiramu.
Abaana b’omugenzi nga bakulembeddwaamu Jerome Lumala Jjagwe nga bayambibwako omukuza waabwe Nsimbe, baddukira ku Poliisi e Nateete ne baloopa omusango ku SDRef:103/22/12/2023 nga bavunaana muka kitaabwe okutunda ennyumba yaabwe. Omusango baagukwasizza munnamateeka Ali Barekye Turyahikayo owa Mpeirwe & Co. Advocates.
Barekye yategeezezza nti okunoonyereza kwe bakoze kulaga nti, Babirye yali yafuna obuyinza ku ttaka lino eriwezaako deesimoolo 27 mu August, 2013 nga yajingirira ebiwandiiko nti bba yafa mu 2012 kyokka nga mulamu ate nga Jjagwe yafa mu 2016 era n’agenda ne mu kakiiko k’ebyettaka n’akyusa ekyapa n’akizza mu mannya ge mu 2022.
Kino bwe baakizuula, baatuuza olukiiko lw’ekyalo nga November 19, 2023, Babirye n’akkiriza nti y’alina ekyapa era n’asaba wiiki emu okuleeta ebiwandiiko ebituufu kyokka teyadda.

Omugenzi Jjagwe

Omugenzi Jjagwe


Nga December 1, 2023 yakyusa ekyapa n’akizza mu munnya ga Johnson Bakulu Wanyana gwe yakiguza obukadde 150.
Mu kkooti, Ssanyu yakkirizza nga bwe yawuddiisibwa bbulooka omu ku City Hall mu Kampala gwe yagambye nti yamusomeramu ddiiru eno okwezza ebintu by’omugenzi n’atuuka n’okwewa obwannannyini nga tannafa, kyokka bwe yabuuziddwa oba amanyi ebikwata ku bbulooka ono n’ategeeza nti ennamba ze zaabulira mu ssimu nga takyazimanyi.
Ono eyabadde yaakamala wiiki emu mu kkomera e Luzira, yayise mu Puliida we Derrick Lufunya okuva mu ba Lufunya & Co Advocates okusaba okweyimirirwa era n’akkirizibwa ku bukwakkulizo obukakali.
Yateereddwaako okusasula obukadde bubiri ezoobuliwo n’abamweyimiridde obukadde 10 ezitali za buliwo, obutataataaganya bajulizi ba ludda luwaabi, era yaweereddwa omwezi gumu okutuusa nga March 14, 2024 okuzzaayo ssente za Wannyana ekyapa kiddizibweyo mu mannya amatuufu ag’omugenzi Jjagwe nga bwe kinaamulema, amateeka galamule