Amawulire

Omusirikale akubye omuvubuka amasasi agamuttiddeyo bwebabadde bagobagana n'ababbi e Namere

OMUSERIKALE akubye omuvubuka essasi mu butanwa n'afiirawo bwebabadde bagoba ababbi ba booda   

Omusirikale akubye omuvubuka amasasi agamuttiddeyo bwebabadde bagobagana n'ababbi e Namere
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Rachael Nankya

OMUSERIKALE akubye omuvubuka essasi mu butanwa n'afiirawo bwebabadde bagoba ababbi ba booda

John Balumpe owa akulira eby'okwerinda mu zooni y'e Namere mu divizoni y’e Kawempe agamba ku Lw’okutaano ekiro ssaawa nga 10 yafuna essimu okuva ewa maneja wa ppaakingi mu kitundu kino nti waliwo kasitooma waabwe akiise ababbi emmotoka ye n'abasuuza piki gyebabadde basibye ku piki endala nga bagitwala ne badduka

Ababbi babadde nga mukaaga wabula basigadde baagala okudda okumulumba okugitwala wano weyakubidde nnyini ppaakingi okumutegeeza ku biguddewo naye nakubira abakulembeze ba zooni eno ne bagya n’amajambiya gaabwe

Difensi ne bane bwebatuuse mu kifo kino basanze nnyini piki gwebabadde bagibbyeko nga bamutemye engalo kwagala kuzigyako ate nga nababbi bakyabalengera babalingizaako

Wano bakubidde poliisi neyanguwa era ababbi olwagirengedde neb eyokya olusuku bweyakubye amasasi mu bbanga

Agamba bakubidde ne patulo okuva e Kawempe nga bagezaako okubanoonya babadde bakyanyonyola komanda kubibaddewo ate ne balengera ekibinja ky’abantu abalala ababadde batambula

Mu kiseera ekyo yabayise okuyimirira wabula bwebaduse omuserikale yabuuse ku mmotoka nakuba esasi ne likwata omuvubuka eyategerekese nga Najib Kivumbi 18, nafiirawo

Balumpe yategeezeza nti obubbi bususe mu kitundu kyabwe wabula bakubulwanyisa okutuusa lwebanabumalawo

Ssentebe w’ekitundu kino Charles Kyobe agamba obubbi bweyongedde mu bitundu eby’enjawulo wabula bbo nga abakulembeze b’ekitundu kino bakusala entoto okulaba nti obubbi buno babumalawo