Amawulire

Omuwala bamussa omulambo gwe ne bagusuula ku kkubo e Matugga ku mabanda

ENTIISA ebuutikidde abatuuze ku kyalo Mabanda e Matugga mu divizoni ye Gombe mu Nansana Munisipality omuwala owe myaka 18 bwasangiddwa nga yatiddwa mu bukambwe omulambo gwe ne gusuulibwa ku kkubo.

Lysa nga bwabadde afaanana
By: Wasswa Ssentongo, Journalist @New Vision
ENTIISA ebuutikidde abatuuze ku kyalo Mabanda e Matugga mu divizoni ye Gombe mu Nansana Munisipality omuwala owe myaka 18 bwasangiddwa nga yatiddwa mu bukambwe omulambo gwe ne gusuulibwa ku kkubo.
 
Atiddwa ye Lydia Achienge 18 nga abadde aliko kkampuni gyakolamu mu bitundu bye Matugga Ono asangiddwa ku kubo nga atiddwa nga engeri gyabadde afananamu eraga nti bamunyodde nsingo nga abatuuze batebereza nti yandiba muganzi we eyamusse.
Aba Poliisi nga baggyawo omulambo

Aba Poliisi nga baggyawo omulambo

 
Omulambo gwa Achienge gulabiddwa  abatuuze abakedde okugenda okukola nga bano engeri gyabadde afananamu ebadde eraga nti bamuleeseewo buleesi kuba ekifo kino tewabadde nsitaano yonna nga kiraga nti omuntu atanaba kutegerekeka yeyamusuddewo nabo kyebakoze kwekuyita abakulembeze be kitundu ababadde bakulembeddwamu John Lubwama naye nayiita poliisi.
Omulambo gwa Lydia nga guteekebwa ku kabangali ya Poliisi

Omulambo gwa Lydia nga guteekebwa ku kabangali ya Poliisi

 
Wano poliisi ebadde ekulembeddwamu DPC waayo Mugoya Yudaaya bazze webatidde Achienge n'embwa yaayo ekonga olusu nga bano ebatambuzza okutuuka mu kifo Kya banekolera gyange ( bamalaaya) nesibira awo nga kiraga nti omutemu yayiseeko mu kifo kino era poliisi bwetyo ne lemwa okuzuula abakoze ekikolwa kino nga DPC Mugoya agambye nti omulambo gutwaliddwa mu gwanika lye ddwaliro e Mulago abasawo bagwekebegye.