KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti ebika bwebibeera byakukulakulana birina obutesulubabba nsonga ya nkulakulana nga kino kizingiramu okunoonya n’okusiga ensimbi ezisobola okubiyamba okutambuza emirimu gyaabyo.
Mayiga okwogera bino asinzidde mu maka g’obwakatikkiro amatongole agayitibwa Butikkiro e Mmengo bwabadde ng’asisinkanye olukiiko olukulembeze lw’ekika ky’Omutima Omuyanja n’asomooza abazzukkulu bonna okuwagira enteekateeka eruubirira okufuna obukadde 500 okuzimba ekizimbe ku ttaka ly’ekika erisangibwa e Mutundwe mu ggombolola y’e Lubaga.

Ab'omutima nga bafuna ekijjulo
“Naffe mu bika ensonga z’obuwangwa, tetusobola kuzikulakulanya nga twesulubabye eby’enkulakulana era kirungi nti ku lukiiko lw’Omutaka kuliko ow’enkulakulana. N’olwekyo ekika kirina okussa omulaka ku by’enkulakulana bwekinaaba kinagundira mu bika by’Abaganda,” Mayiga nga ye muwabuzi omukulu ow’ekika bwayogedde.
Katikkiro agambye nti ekika kino okutuuka ku nkulakulana kisaana okutandikira ku kukozesa ebyo byekirina okuli ettaka e Mutundwe mu ggombolola y’e Lubaga nga wano beetaagawo obukadde bwa 500 okuliteekako ekizimbe omunaava ssente ate neeryo ku butaka bw’ekika kino obusangibwa e Bbaale- mu Buddu.
Mu ngeri y’emu Katikkiro Mayiga era asabye obukulembeze bw’ekika okulowooza ku bintu ebirala ebisobola okuzaala ensimbi ate zeyambisibwe mu kutambuza emirimu gyaakyo okuli okutandika ekitavvu bonna mwebanatereka n’okwewola ensimbi, okugula emigabo mu gavumenti n’ebirala.

Katikkiro ng'ayogera
Mayiga agambye nti ayagala buli kiseera ensi ebeere ng’ewulira ebyo ebikolebwa mu kika, bimanyibwe olwo abazzukkulu lwebanasobola okubyenyigiramu.
Omukulu w’ekika ky’Omutima Omuyanja, Nicholas Kasekende nga ye Namugera Kakeeto owa 47 mu kukulembera ekika kino ategezezza nga bwe waliwo sacco y’ekika eyali etandikiddwa kyokka netatambula bulungi bwatyo n’alagira ebiwandiiko byonna ebikwata sacco bisindikibwe ewa Munnamateeka w’ekik Salim Makeera byekenenyezebwe, balabe engeri gyeyinza okuzzibwa obuggya.
Omukunganya w’Olupapula lwa Bukedde era nga yatwala ebyamawulire mu kika ky’omutima yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okwagazisa bazzukkulu banne obukulembeze era awadde amagezi nti ng’enteekateeka zikolebwa okuzza saaco yaabwe obuggya, kisaanye enteekateeka zikolebwe ebeere ng’etereka ate n’okuwola.

Omukung'aanya w'olupapula lwa Bukedde ow'okuntikko Micheal Mukasa Ssebbowa ng'ali mu munsinsikano n'abeddira Omutima
Ye Hajj Sadala Musoke Kabuubi nga yatwala eby’enkulakulana mu kika kino agambye nti bagenda okuteeka amaanyi ku nkulakulana y’obutaka bwaabwe e Bbaale mu Buddu wafuuke eky’obulambuzi eky’omulembe, ate n’okuzimba ebizimbe omunavanga ssente.
Olukiiko luno lukubiriziddwa Katikkiro w’ekika kino, Kiteekwe Mujjuzi agambye nti essira baagala kuliteeka ku nkulakulana okulaba ng’ekika kiyitimuka era n’akunga abazzukkulu bonna okweteekateeka okulamaga ku Butka e Bbaale wakati wa August 29-30, 2026.