SSAABASAJJA kabaka wa Buganda,Ronald Muwenda Mutebi 11 yatenderezza emirimu gy’abadde katikkiro wa semanobe,Lawrence Mukalazi Kimbowa eyafudde ku lunaku lw’okubiri wiiki ewedde obulwadde bwa kkansa.
Obubaka bwe yabitisse minisita w’ebyobuwangwa n’annono,Anthony Wamala n’asiima omugenzi Kimbowa olw’obwagazi bwabadde nabwo eri obuganda nti era nga abadde musaale nnyo mu kukuuma ebifo eby’enkizo mu bwa Kabaka ebisangibwa e Naggalabi.

Omubiri gw'omutaka Lawrence Mukalazi
Kabaka yategeezezza nti mu mwaka gwa 1993,omutaka Kimbowa yali musaale nnyo bwebaali bamutuuza ku namulondo nti era nga yakola nnyo okuweesa omukolo ekitiibwa.
Omukolo gw’okuziika omutaka Kimbowa gwatandiise na kusaba era nga kwakulembeddwaamu omusomesa w’ekisomesa kya Uganda Martrys e Nakilagala,Deogratius Wamala ng’ono yasabye abantu okukomya okwemalamu ku bintu bw’ensi kuba byonna bwetufa tewali kyetugenda nakyo.
Wamala era yategeezezza nti omugenzi abadde ayagala Eklezia nti era buli bw’abadde amutuukilira ku mirimu gy’omukama ng’afuba okulaba ng’awaayo bw’atyo n’asaba aba ffamire okutwala omukululo guno mu maaso.
Omutaka we kika kye Mmamba,James Mubiru Ziikwa mu bubaka bweyatumye katikkiro we yategeezezza nti omutaka Kimbowa abadde mulung’amya nnyo eri nnyo olujja lw’abadde akulembera olwa Nnume nti era abukoze bulungi nnyo bw’atyo n’amwagerako ng’omuntu atagenda kubeera mwangu kuzzikawo.
Semanobe ,Paul Kizito yategeezezza nti yadde nga katikkiro we yagenze abadde amuyigiddeko ebintu bingi ebikwaata ku Nnono n’obuwangwa bw’atyo n’akakasa ng’emirimu gy’obwa Kabaka bwegigenda okusigala nga gitambula bulungi.

Abakungubazi mu lumbe lw'omutaka Mukalazi
EKIRAAMO KY’OKUMUZIIKA KYEYALEKA KYABADDE KIKAMBWE.
Ebyewuunyo bingi ebyalabikidde mu kuziika omutaka Kimbowa era nga yaraamu okumuziika mu mbogo si sanduuka era yaziikiddwa mu mbugo 309 ate nga n’etaana yalagira basime fuuti 15 era nakyo kyakoleddwa.
KATIKKIRO WA SEMANOBE OMUGGYA YALONDEDDWA.
Amangu ddala ng’omugenzi Kimbowa amaze okuziikibwa katikkiro eyamudidde mu bigere yasomeddwa erinnya nga,Alex Mukasa wabula ng’ono ekifundiikwa kye kyaweereddwa,Semanobe,Paul Kizito olw’ensonga nti mu kiseera kino ali mitala wa mayanja.
Omukolo gw’okukwasa semanobe ekifundiikwa gwakoleddwa katikkiro w’omutuba gwa Kagwe,Tomas Mayanja era naye yakuutidde aze mu bigere by’omugenzi okukuuma omukululo gw’aresse.