AB’ESSOMERO lya Naalya SS e Bweyogerere bajjukidde abagenzi abaalikolerera omuli n’abasomesa, abafumbi baddereeva, abakozi ba wansi ssaako n’abalyowi b’emyoyo omuli Can. Godfrey Njagala.
Okusaba kw’okwebaza Katonda olw’ebirungi abagenzi bye baakolerera essomero lino ssaako n’okusiima abayizi ba S4 okukola obulungi ebigezo okwabadde ku ssomero lino e Bweyogerere ku Ssande, kwakulembeddwa Rev. Emmanuel Awacha okuva mu kkanisa ya St. Luke Bweyogerere.
Rev. Awacha nga nzaalwa ya Sudan era nga muyizi mu Uganda Christian University (UCU) - Mukono yasabye buli muntu yeetikke omusaalaba gwe ogubadde gumuwabizza mu maaso ga Katonda. Yalaze obwetaavu bw’abayizi n’abasomesa mu ssomero lino okwongera okulung’amizibwa Mwoyo Mutukuvuokutuuka ku buwanguzi obwa nnamaddala.
Robinah Nsangi omukulu w’essonero lino yagambye nti bali mu kaweefube wa kulung’amya bayizi mu nteekateeka y’ensoma empya (new curriculum