Bya Godfrey Kigobero
POLIISI efulumizza amannya g'abantu abaafiridde mu lyato eryebbise mu nnyanja Nnalubaale , n'agaabo abaataasiddwa.
Emirambo gy'abalala egikyabuze, kuliko ogwa Emannuel Nsubuga 35 ow'e Kasanje nga ye yabadde avuga eryato, Francis Mundenkye 50, ow'e Bushenyi, Maama Clare nga w'e Kisoro.
Be baataasizza kuliko: Flex Asiimwe, Leticia Akatukwasa, Justine Namata, John Isingoma, Pius Twinamatsiko , Robert Tumusiime, Selestine Maniriho , Simeon Tumuhimbise , Joel Tinkansimire , Aisha Namuyomba ne Frank Galiwango.
Kigambibwa nti bwe lyatuuse mu kitundu kya Kacanga , omuyaga ne gulisika nga n'ekyaddiridde ku bbira. Kwabaddeko abasaabaze 17, enkota z'amatooke nga 200, ensawo za muwogo 7, n'ebintu ebirala.