Omuserikale wa poliisi avudde mu mbeera, n'akuba abantu babiri amasasi agabalumizza, oluvannyuma naye ne yetta.
Amangu ddala abaserikale ba poliisi batuuse mu kifo ne baggyawo abalumiziddwa ne batwalibwa mu ddwaaliro e Mulago okufuna obujjanjabi, n'omulambo gw'omuserikale, ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago, ng'okunoonyereza kukolebwa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti emmundu ekika kya AK 47, egambibwa okukozesebwa mu ttemu lino, nayo bagifunye era abakugu bagyekebejja.
Agasseeko nti, entabwe yandiba ng’omugenzi, yalina enkolagana ne Akankunda nti kyokka ne bafuna obutakkaanya ne baawukana , nti era awo wayinza okuba we waavudde obuzibu