Amawulire

Omuserikale eyasinzidde ku tiktok n'alangira bakama be okulya enguzi poliisi emukutte

POLIISI e Kasangati ekutte omuserikale waayo ku bigambibwa nti yakozesezza bubi omukutu, okuwaayiriza bakaama be okulya enguzi ne bayimbula omusibe.

Omuserikale eyasinzidde ku tiktok n'alangira bakama be okulya enguzi poliisi emukutte
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI e Kasangati ekutte omuserikale waayo ku bigambibwa nti yakozesezza bubi omukutu, okuwaayiriza bakaama be okulya enguzi ne bayimbula omusibe.

Fatina Mukolerwa ow'ekitongole ekikola ku nsonga z'abaana n'amaka e Kasangati, y'akwatiddwa ku bigambibwa nti aliko bye yakonjedde bakama be , ku kuyimbulwa kwa Sylivia Arinaitwe ku kakalu ka poliisi.

Arinaitwe yabadde akwatiddwa ku musango gw'obutabanguko mu maka era ne bamuggalira ku CRB  70/2024.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti bwe baakutte Arinaitwe, baakitegeddeko nti abaana be baabadde basigadde bokka ate nga babasibidde ebweru, so nga ne bba, yabaddeko entegeka y'okwagala okutunda awaka, ekyawalirizza okumuyimbulira ku kakalu ka poliisi asobole okuddayo ayambe abaana.

Owoyesigyire, avumiridde ekikolwa ky'abaserikale okudda ku mitimbagano ne bakolokota bakama baabwe, ekitali kya mpisa nti kuba bamanyi amakubo ge balina okuyitamu eri yo abeera azzizza omusango, so so ku mutimbagano.

Tags:
Amawulire
Poliisi
Kukwata
Bakama be
Muserikale
Tiktok
Mutimbagano