POLIISI e Kasangati ekutte omuserikale waayo ku bigambibwa nti yakozesezza bubi omukutu, okuwaayiriza bakaama be okulya enguzi ne bayimbula omusibe.
Arinaitwe yabadde akwatiddwa ku musango gw'obutabanguko mu maka era ne bamuggalira ku CRB 70/2024.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti bwe baakutte Arinaitwe, baakitegeddeko nti abaana be baabadde basigadde bokka ate nga babasibidde ebweru, so nga ne bba, yabaddeko entegeka y'okwagala okutunda awaka, ekyawalirizza okumuyimbulira ku kakalu ka poliisi asobole okuddayo ayambe abaana.
Owoyesigyire, avumiridde ekikolwa ky'abaserikale okudda ku mitimbagano ne bakolokota bakama baabwe, ekitali kya mpisa nti kuba bamanyi amakubo ge balina okuyitamu eri yo abeera azzizza omusango, so so ku mutimbagano.