EYAKULIRA okuwawaabira Ssaabalabirizi Steven Kazimba Mugalu n’abalabirizi abawera 33 abaasazaamu Can. Godfrey Kasana Semakula ategeezezza nga bw’abiggyeemu enta n’asaba Abakristaayo b’e Luweero okwegatta bawagire Omulabirizi Wilson Kisekka eyalondeddwa.

Ssendowooza Ng'azze Ku Kitebe Okusazaamu Omusango.
John Site SSendowooza, ow’Obussaabadinkoni bw’e Ndejje ne banne bana omuli Moses Kakembo okuva mu Busaabadinkoni bwa Luteete, Christopher Katende Ssajjabbi ne John Bbemba nga bayita mu munnamateeka Erastto Kibirango baatwala Abalabirizi mu kkooti ne bawakanya okuddamu okulonda Omulabirizi wa Luweero ow’okuna okutuusa ng’omusango gwabwe gumaze okuwulirwa nga ne Kasana afunye obwenkanya.
Wabula, Abalabirizi baagenze mu maaso n’okulonda Omulabirizi wa Luweero ekyavuddeko Ssendowooza ne banne okukuba enkanda wansi ne bagamba bagenda kuddukira mu kkooti balinnye eggere mu kumutuuza.
Kyokka Ssendowooza ne Bemba beeyawudde ku bannaabwe ne bajja ku kitebe ky’Obulabirizi e Luweero n’ekiwandiiko kye bawaddeko Ssaabalabirizi kkopi, Abalabirizi 33, Omulabirizi Eridard Nsubuga Kironde eyawummula ne Can. Kasana ne bategeeza nga bwe bavudde mu by’omusango bawagire Omulabirizi eyalondeddwa okwewala okwawula mu Bakrsitaayo.
Baategeezezza nti n’omusango ogubadde gugenda okuwulirwa ku kkooti e Luweero nga March 17 tebagenda kulinnyayo kuba ne bwe baddukirayo okugaana okulonda Omulabirizi baabaziimuula buziimuuzi.
Wabula, munnamateeka Kibirango n’abalala ababiri bwe baatuukiriddwa ku ssimu baategeezezza nti omusango gulina okugenda mu maaso wadde nga Ssendowooza ne Bbemba baabivuddemu.