Amawulire

Abantu 169 abaayingira eggwanga mu bukyamu Ministry y'ensonga z'omunda egenda kubazzaayo ewaabwe

Abantu 169 abaayingira eggwanga mu bukyamu Ministry y'ensonga z'omunda egenda kubazzaayo ewaabwe 

Abamu ku bagenda okuddizibwa ewaabwe
By: Sulaiman Mutebi, Journalist @New Vision

Ministry y'e nsonga z'omunda ezizza abantu 169 abayingira mu Uganda mu bukyamu mu nsi yaabwe.

Bano bakwatibwa gyebuvudeko nga basangibwa mu kiyumba kimu ne babanonyerezako era baagenda okizuula nga bayingira mu ggwanga Uganda mu bukyamu. Abasajja bali 141 ate abakyala bali 28 okuva mu mawanga okuli 
Pakistan, Bangaladesh, Malesia, sirilanka, india ne Miami.

Kigambibwa nti abamu babadde ku visa zankukyala naye ate nga bali mu kukalabya mirimu mu bukyamu. Assistant commissioner inspection and compliance kahwa Robert Kato agamba nti kino kikosa ebyenfuna bye ggwanga kuba abantu abamu tebawa musolo.

 
Kigambibwa nti abantu bano bagenda ku bazzaaayo mu biwagu kuba ennyonyi zajudde era oluna lw'eguuo bazizayo 23 leleero 18 ate olweguuo 40. 

Abantu bano babaguddemu nga waliwo bebabadde bayamba okujuza empapula era bagenze okutugaana okukuba ebifananyi nga twamaze dda okubibwata.

Babadde bakambwe nga abasinga obungi tebaagala ku bakwata mu bufananyi. Bakute amasimu gaabwe ne batandiika okukuba banamawulire ebifananyi nga bwebayomba era abamu babadde baagala ku menya camera.

Obwedda bus ejjula bwefuluma n'egenda. Waliwo abamu betulabye nga babayambako okujjuza empapula ku kitebe Kya Minisiture ye nsonga z'omunda. Kato akubirizza abantu okutegezza abobuyinza bwebabeera balina abagwira bebekengedde okubeera mu gwanga mu bukyamu. Agamba nti ebikwekweto bino bigenda kugenda mu maaso.