PULEZIDENTI Museveni atongozza vaccine egenda okukubwa ebisolo okubatangira okulwala endwadde eziva ku nkwa kiyambe abalunzi okuganyulwa mubulunzi.
Museveni yasinzidde ku kyalo Nakyesasa mu ggombolola ye Busukuma e Wakiso ku ofiisi za NARO bweyabadde atongoza vaccine eno okutandika okukubwa ebisolo mu ggwanga.
Museveni asoose nakusubiza kitongole kya NARO obuwumbi 600 zibayambeko okufulumya doozi eziwera eri abalunzi.

Pulezidenti Museveni ng'atongoza Vaccine
Museveni asoose kuggulawo kkolero mwe bagenda okutabulira vaccine enk era nebamulambuza ekifo kyonna bwe kifanana.
Dr. Yona Baguma akulira ekitongole kya NARO ategeezezza nti omulimu gw'okuvumbula vaccine eno baagutandika mu 2013 nga bakwataganye ne bakakensa ab'enjawulo okulaba nga bayamba ku balunzi abaludde nga batawanyizibwa enkwa ezimalawo ebisolo byabwe.
Asiimye pulezidenti Museveni olw'amaanyi gataddemu okulaba nga banna ssayansi bongera kubukugu bwabwe nga tewali abakuba kumukono.
Ono yategezezza nti vaccine eno egenda kuyamba nnyo abalunzi b'ebisolo okulaba ng'ebisolo byabwe tebiddamu kulumbibwa nkwa olwo bongere okubifunamu.
Yagambye nti ekkolero lye bakoze lisobola okufulumya doozi za vaccine obukadde busatu buli mwaka era nagamba nti balina akatale kanene wano ne wabweru w'eggwanga kyokka tebalina busobozi bumala kufulumya vaccine eno.
"Pulezidenti tusaba otukwatizeeko kumulimu guno kuba munene nnyo ate twagala gugase buli mulunzi mu ggwanga olwo obulunzi bwongere okutinta." Dr Baguma bweyayongeddeko. wano wasabidde pulzideti

Pulezidenti Museveni ng'atuuka e Namulonge
Ye David Nahamya akulira ekitongole ekivunanibwa kumutindo gwe ddagala mugwanga ekya National Drug Authority, yategezezza nti ekkolero lino balirambudde okumala ekiseera era nebagezesa ne vaccine gyebakoze kye yagambye nti etukana n'omutindo gwensi yonna.
Nahamya yagambye nti bakusigala nga balambula aba NARO okulaba nga basigala bakola ebiri kumutindo kiyambe abalunzi obutafirizibwa.
Minisita omubeezi ow'ebyobulunzi Bright Rwamirama yategezezza nti vaccine egenda kuyamba nnyo abalunzi kuba bangi babadde babonabona nnyo n'eddagala effu kukatale, ono asekeredde abantu ababadde batunda eddagala lino kuba abalunzi bafunye obuwerero.

Pulezidenti ng'ali n'bakungu ba Gav't e Namulonge
Ye minisita w'ebyobulimi obulunzi n'obuvubi, Frank Tumwebaze yayogedde ku vaccine eno nga bwegenda okuyamba ennyo abalunzi wamu n'okuyambako okufulumya ennyama ennungi, kyokka nagamba nti Gavumenti esanye okwongera okubunyisa enkola ya PDM abantu basobole okulunda kibayambe okwekulakulanya