Amawulire

EMPISO EGEMA SIRIIMU:Biibino by’oteekwa okumanya nga ‘tonnasaatuuka’

GAVUMENTI yatongozza empiso eziyiza siriimu okumala emyezi mukaaga ng’omuntu agifunye tasobola kufuna bulwadde buno ne bwaba yeegasse n’oyo alina akawuka kano.Empiso eno eyitibwa Lenacapavir yagezesebwa mu nsi 2; Uganda ne South Africa n’ezuulibwa ng’esobola okuziyiza omuntu ebitundu 99.9 ku 100.

Eddagala erikozesebwa mu kugema.
By: John Musenze, Journalist @New Vision

GAVUMENTI yatongozza empiso eziyiza siriimu okumala emyezi mukaaga ng’omuntu agifunye tasobola kufuna bulwadde buno ne bwaba yeegasse n’oyo alina akawuka kano.
Empiso eno eyitibwa Lenacapavir yagezesebwa mu nsi 2; Uganda ne South Africa n’ezuulibwa ng’esobola okuziyiza omuntu ebitundu 99.9 ku 100.
Ekitongole ky’ensi yonna ekya Global Fund ne Gavumenti ya America zaawadde Uganda ddoozi 19,200 wabula Gavumenti n’esalawo nti zino zaakuweebwa abo bokka abali  mu katyabaga k’okufuna siriimu.

Mu bano mulimu abaana n’abavubuka abatandika okwegatta, bamalaaya, abavuga lukululana, abafumbo nga omu ku bbo alina akawuka ng’omulala talina naabo abakola mu bifo ebisanyukirwamu ng’ebbaala ne gyebakolera masaagi.
Omukugu era eyakulira okugezesa eddagala lino, Dr. Flavia Matovu Kiweewa yategeezezza byolina okukola obutasobya ddagala lino.
Kiweewa okusookera agamba nti omuntu yenna akubwa empiso eno, alina okumala ennaku bbiri nga teyeegatta nga talina bukuumi bulala ng’akapira (kondomu). Ono yategeezezza nti wadde eddagala lino likola naye kiritwalira essaawa 48 okutuuka mu mubiri gw’omuntu gwonna.
“Tusaba bwoba waakwegatta  kozesa kondomu mu ssaawa 48 ezisooka. Ate era bw’omala okufuna empiso oweebwa empeke 4, mmira 2 nga waakafuna empiso ate era oddemu omire endala enkeera.” Okwawukanako ku mpiso endala, empiso ekubwa ku kisambi oba ku lubuto era buba obuyiso bubiri omuntu bwakubwa omulundi gumu. Omusawo Kiweewa agamba nti bazzeemu ne bakola okunoonyereza ng’omuntu ne
bwaba akubiddwa ku mukono empiso ekola bulungi.
“Empiso eno emala emyezi mukaaga mu mubiri era bwoyisaamu emyezi eba tekyasobola kukuziyiza,” Kiweewa yategeezezza nti empiso eno teziyiza kufuna lubuto wadde okuleeta obuzibu bwonna ku mwana ali mu lubuto singa baba bagikukubye ng’oli lubuto. “Bulijjo wabaddewo mpeke nga zino abantu balina okuzimira buli lunaku okwetangira siriimu.

Empiso eno ekuyambako okubeera n’obwerinde bwa myezi mukaaga nga tozzeemu kumira mpeke. Kiweewa agamba nti abantu babadde batyanga okumira eddagala mu bantu olw’okusosolebwa era nga bino  byonna empiso yakubitangira.
Mu kwogerako ne Munayuganda eyasoose okufuna empiso eno mu Lira, yategeezezza nti teyafunyemu wadde okulumizibwa okujja n’okugemebwa nga ne Dokita Kiweewa yatukakasa nti okujjako ng’omubiri gwo gwanjawulo, tewali bulabe bwonna omuntu bw’ayinza okufuna. 

Akulira okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya mu  minisitule y’ebyobulamu, Herbert Kadaama yategeezezza nti empiso eno tetundibwa ng’ebeera ya bwereere. “Empiso eno si yakuweebwa buli muntu. Olina okuba nga emikisa gyo okufuna siriimu giri waggulu nnyo okugeza singa muganzi wo alina akawuka ka siriimu oba ng’oli malaaya.” Kadaama yategeezezza ntiGavumenti yaakwongera okuwa
Bannayuganda enkola endala omuli kondomu n’empeke za buli lunaku eziziyiza siriimu eri abo bonna abataasobole kufuna mpiso eno.
Mu 2024, Bannayuganda 37,000 be bafuna akawuka akaleeta siriimu nga ebitundu 65 ku 100 baali bavubuka ate nga bawala. Eno y’ensonga lwaki Gavumenti yasazeewo bano
bassibwe ku mwanjo okufuna empiso eno.