Amawulire

Pulezidenti Museveni awakanyizza ebiri mu bbago lya Sovereignty Bill

PULEZIDENTI Museveni awakanyizza ebiri mu tteeka ly’obwetengereze erya Sovereignity Bill eryaleetebwa mu Palamenti n’agamba nti be yalagira okulibaga baava ku bintu ebikulu ne badda mu kuteekamu ebyabwe ebitali bya mugaso.

Pulezidenti Museveni ng'ayogera
By: Kizito Musoke, Journalist @New Vision
PULEZIDENTI Museveni awakanyizza ebiri mu tteeka ly’obwetengereze erya Sovereignity Bill eryaleetebwa mu Palamenti n’agamba nti be yalagira okulibaga baava ku bintu ebikulu ne badda mu kuteekamu ebyabwe ebitali bya mugaso.
 
Mu kiwandiiko Pulezidenti kye yatadde ku mukutu gwa X (eyali twitter) agambye nti etteeka lyali lya kulemesa bantu abaagala okutabangula eggwanga nga bayita mukuwa ssente abalabe baalyo.
 
“Bambi mutuleke, twesalirewo nga bwe twagala. Temubeerako bantu be muwa buyambi kutusalirawo byakukola ng’eggwanga kuba Konsitityusoni yakiraga dda nti tusobola okusalawo be twagala okutukulembera nga tuyita mu kulonda n’okukuba akalulu k’ekikungo”. Bwagambye.
 
Museveni asabye abantu obutagezaako kutabangula ggwanga mu ngeri yonna nga bayita mu kowgera ebigambo, okwenyigira mu bikolwa oba okweyambisa ssente.
 
Awabudde nti enkola n’endowooza ez’enjawulo zisobola okuzimba oba okutabangula eggwanga, kuba Uganda yali eyonoonese olw’ebyobufzui ebirowooleza mu kwawula amawanga, n’amaddiini mu kifo ky’okufa ku bizibu ebinyiga eggwanga ng’okunonya obutale bw’ebintu.
 
Gavumenti ya NRM eyanunula eby’enfuna by’eggwanga tewali ngeri gyeyinza kukeera ku makya kulemesa Bannayuganda okuleeta n’okufulumya ssente ebweru w’eggwanga, okugaana amasinzizo okufuna n’okusindika ssente wadde okugaana Bannayuganda abali ebweru okuweereza ssente.
 
Kyokka ekyewunyisa mu kiseera kino waliwo abateekamu olwali nga bazizikamu ebintu ebitaali mu bbago, ekintu ky'agambye nti kikyamu.
 
Pulezidenti alagidde Nnampala wa Gavumenti, Hamson Obua n’abakulira obukiiko bwa Palamenti abakola ku bbago essira okuliteeka ku bintu ebikulu mu kifo ky’okuyingira abantu abatambuza ssente zaabwe n’obuyambi bw’amakanisa.
 
Enkola y’okulwanirira obwetwaze bwa Africa kizze kikolebwa okuva mu 1900, amawanga gonna bwe gaafugibwa ng’oggyeko Ethiopia.  
 
Abafrica beerwanako bokka  nga bayambibwako banywanyi baabwe okuva e Russia ne China abaabayamba okwenunula nga baasembyayo South Africa mu 1994.
 
Museveni agambye nti yalwanirira ente Enyankole abakugu ze baali bagamba nti si nnungi kuvaamu nnyama wadde amata. Mu kiseera kino zirina akatale mu nsi yonna era mu ngeri ey’enjawulo yeebazizza Pulezidentiu Ramaphosa eyagula ente 43 okuva e Kisozi n’azitwala.
 
Abantu abaagala okusalirawo Uganda, Museveni abawadde amagezi beekwate ekitabo kya Matayo 15:16 awagamba nti;