Amawulire

Nnyazaala agobezza mutabani we Nnaalongo mu nnyumba ye

Omukadde agobezza mutabani we omukazi mu nnyumba ye oluvanyuma lw’okubalaba ku ttivi nga bagikaayanira.

Omukadde ng'alaga ennyumba ye gy'ayagala mutabani we Ssaalongo Richard Kizza aggyemu mukazi we..jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Saul Wokulira             

Omukadde agobezza mutabani we omukazi mu nnyumba ye oluvanyuma lw’okubalaba ku ttivi nga bagikaayanira.

 Alangidde mutabani we obubbi olw’okumutuma amugulire ennyumba kyokka mu kusasula ssente endagaano n’agikola mu mannya ge.

 Omukadde Nnaalongo Atebata 82, y’agobye mutabani we Richard Kizza ne mukazi we Nnaalongo Mary Nakiboneka mu nnyumba.

Bano batuuze ku kyalo Nakyessa mu ggombolola y’e Kayonza mu disitulikiti y’e Kayunga.

Omukadde eyazze n’ebbaluwa okuva ewa ssentebe w’ekyalo agambye nti yalabye ku mawulire Agataliiko Nfuufu nga mutabani we Ssaalongo Kizza akaayanira ennyumba ne Nnaalongo we ate ng'ennyumba tebangako ya Kizza, naye kwe kubukeereza enkokola okutuuka ewa Collins Kafeero amuyambeko okununula ennyumba ye gye yatuuyanira.

Omukadde azze n'abaana be abalala okubadde: Kyokudi Robinah, Odongo John, Asan Wasswa ne Alakiti Teopista  okwongera okulumiriza mukulu waabwe Kizza nti ennyumba gy’agabira Nnaalongo we ssi yiye era batya nti ssinga balekebwa okugibeeramu, omukadde bw’alifa Kizza ne mukazi n’abaana baabwe bajja kugitwalira ddala.

Kafeero Ng' Ayogera Ne Nnaalongo Abadde Mu Nnyumba Ya Nnyazaala We.

Kafeero Ng' Ayogera Ne Nnaalongo Abadde Mu Nnyumba Ya Nnyazaala We.

Mu kwongera okunnyonnyola ku bwannannyini, omukadde agambye nti yalima obulo, entungo, ebinyeebwa ne kasooli n’agulangamu ente ng' azirundisa mutabani we Ssaalongo Kizza era bwe zaawera n’amulagira atundeko ente 25 amuguliremu ennyumba z’emizigo afunemu ku ssente kubanga amaanyi agalima gamukendedde.

Kino kyatabudde Nnaalongo ne Ssaalongo ne baddamu buto okuyomba, Ssaalongo n’akukkulumira Nnaalongo olw’okumulyako ebintu abako bye baaleeta nga Nnaalongo afumbiza omuwala ate nga yamuzaalira mu maka ga Ssaalongo kubanga we beefunira nga Nnaalongo ali lubuto lwa myezi etaano.

Wabula Nnaalongo yagambye nti kitaawe w’omwana ebintu byonna yali abyezzizza era Nnaalongo yamala kuloopa ku poliisi, omusajja n’alyoka amuwaako akakadde k’ensimbi kw’obwo 10 n’ente mwenda omusajja ze yasalira abako abaawasa omuwala oyo.

Kizza yeetondedde nnyina olw’okwekomya ennyumba ye era n’asaba aweebweyo akabanga ka myezi esatu afune gy’atwala famire ye, olwo omukadde ennyumba emuddire.

Ye owa poliisi n’omuntu wa bulijjo e Kayunga, Brian Agaba abuuliridde abantu ku kwerinda obumenyi bw’amateeka n’alabula abavubuka okwewala effujjo kubanga lijja kubatwaza mu makomera.

Agaba abasomedde ekyawandiikibwa mu Bayibuli mu Matayo 5:25 olugamba nti omuntu atabagane mangu n’oyo avunaana.

 Kafeero agambye nti newankubadde Ssaalongo Kizza ne Nnaalongo Nakiboneka Mary balina obutakkaanya basooke baggyeemu okukadde nga bamuddiza ennyumba ye olwo bamalirize ensonga zaabwe ez’ababiri.

 

Tags:
Nnyazaala
mutabanti
Nnaalongo
nnyumba ye
agobezza