Amazzi ganzizeeko amaduuka g'abasuubuzi mu kibuga
Apr 18, 2024
Wakati ng'abasuubuzi mu kibuga Kampala bakyakalambidde ku keediimo ke baliko mwe baggalira amaduuka gaabwe nga bawakanya enkola y'okusasulira omusolo ku digital eya Efris, ekire ky'enkuba ekifudembye mu kiro kya leero ate kireese amazzi gayingidde mu maduuka gaabwe era emmaali yaabwe eteeberezebwa okuba ng'eyonoonese..

NewVision Reporter
@NewVision
Wakati ng'abasuubuzi mu kibuga Kampala bakyakalambidde ku keediimo ke baliko mwe baggalira amaduuka gaabwe nga bawakanya enkola y'okusasulira omusolo ku digital eya Efris, ekire ky'enkuba ekifudembye mu kiro kya leero ate kireese amazzi gayingidde mu maduuka gaabwe era emmaali yaabwe eteeberezebwa okuba ng'eyonoonese.
Omusuubuzi ng'asena amazzi mu maduuka
Ebimu ku bizimbe ebisinze okukosebwa ku baddeko ekya Qaulicel eky'omugagga Drake Lubega ne Mutaasa Kafeero ng'abavubuka abazira kisa n'abamu ku basuubuzi abasobodde bagezaako okulaba nga basenna amazzi mu bizimbe okutaasa emaali y'abasuubuzi.
Ye ssentebe w'abasuubuzi mu kibiina kya Kampala arcade's Trader's Association (KATA), Godfrey Katongole asabye ba landi loodi bakkirize abasuubuzi bayingire bakebere ku maali yabwe oluvannyuma ate baddeeyo ku kediimo kabwe...
No Comment