Ebinaakuyamba okukola ssente ng’ogguddewo ekirabo ky’emmere
May 11, 2025
WIIKI ewedde twalaba bw’okwata bizinensi eyokufumba emmere eyettanirwa abantu naddala akawungeezi mu bubuga obutono. Leero katukulage by’olina okussaako essira ng’osuumuseemu n’otandika ekirabo ky’emmere ng’ofumba emmere ewerako.

NewVision Reporter
@NewVision
WIIKI ewedde twalaba bw’okwata bizinensi eyokufumba emmere eyettanirwa abantu naddala akawungeezi mu bubuga obutono. Leero katukulage by’olina okussaako essira ng’osuumuseemu n’otandika ekirabo ky’emmere ng’ofumba emmere ewerako. Bizinensi eno bw’ogikola obulungi, osobola okugikola obulamu bwo bwonna n’abaana bo ne bagisikira.
OMU ku bali mu bizinensi eno ate ng’agiruddemu ye mmeeya wa Kampala Central Salim Uhuru era nga ye nnanyini Uhuru Restaurant. Agamba nti ng’onoogikola obulungi, olina okusooka okuba n’ekirooto n’omanya n’ekika ky’abantu b’oyagala okuliisa olwo n’omanya bye weetaaga okuteeka mu nkola.
Abaagala okutandika bizinensi eno abalaze byemulina okuteeka mu nkola, omuli;
1 Okumanya ky’oyagala era n’abantu b’oyagala okuliisa: Bw’oba otandika lesitolanti ey’omulembe, olina okumanya ekika ky’abantu ky’oyagala okuliisa n’omanya n’emmere gye basinga okwagala. Eyo gy’oba osinga okufumba kyokka nga n’ebika by’emmere ebirala olina okubifumba.
2 Ekifo w’ogenda okugiteeka: Lesitolanti ey’omulembe olina okugiteeka mu kifo ekirimu oba ekiyitamu abantu abangi kyokka nga bw’obalaba basobola okugula emmere ku bbeeyi gye weetaaga. Jjukira ebiseera ebimu ekifo kino oba opangisa kipangise ng’emmere bw’ogitunda ssente entono ennyo bizinensi esobola okukulemerera.
3 Ssente ez’entandikwa: Zino zaawuka okusinziira ku bunene bwa lesitolanti gy’otandise. Obunene bwayo bwebukuwa abakozi b’otandika nabo, ebyuma ebifumba by’ogula n’ebintu ebirala ebigwa mu kkowe eryo. Jjukira olina n’okugula ebyuma ebigikuuma ng’eyokya.
4 Emmere ey’omulembe: Mu lesitolanti bweti, olina okukakasa ng’okozesa abafumbi abamanyi okufumba ebika by’emmere eby’enjawulo. Bano bajja kufumba emmere ewooma kikuyambe okukufunira bakasitoma ate n’okukwekuumirako.
5 Teekawo ebisikiriza abantu okulya: Mu kifo kino teekamu ebintu gamba nga ttivvi, ebiwujja empewo, emmeeza ennungi, abakozi abambadde obulungi n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo. Ebyo bw’obikola bizinensi ya lesitolanti oba ojja kugisobola.
6 Embega y’emmere: Kino kikulu kubanga amagoba go kwe gasinziira. Bbeeyi y’essowaani esinziira ku bwe waguze kale bw’odiibuuda ate nga wagifunye ku buseere oyinza okufiirwa.
7 Okugaziya ennyingiza lesitolanti zitaddewo enkola okugondeza ku bakasitoma baazo nga babaweereza emmere nga mu ofiisi gye bakolera.
Bw’oba okola bulungi lesitolanti ekutunda n’ofuna nab’emikolo eminene
No Comment