Nnamwandu wa munnamateeka eyafiiridde mu kabenje e Nkuba yetondedde abakungubazi

Huzaima Kaweesa
Journalist @Bukedde
Apr 20, 2024

ABAKUNGUBAZI beeyiye ku Klezia ya St. Joseph and Bruno Sserunkuuma Chaplaincy e Luzira okusabira omugenzi munnamateeka era omusomesa ku ttendekero lya Uganda Christian University e Mukono, Raphael Okiot eyafiiridde mu kabenje e Nkuba  nnamwandu ne yetondera abakungubazi ku bizze bibeerawo.

Mu kusaba kuno kukulembeddwamu Rev. Fr. John Bosco Sserumaga, omu ku bannamwandu era nga Mulamuzi, faith Kwagala yetondede abakungubazi olw’ebyo byonna ebizze bibaawo okuva bba bweyafa n’ategeeza nga bwebitaabadde bigenderere n’abasaba okumusaasira kubanga naye muntu asobola okusobya nga omulala yena.

Abakungubazi mu kusabira Raphael

Abakungubazi mu kusabira Raphael

Bino webijidde nga waliwo okusabira omugenzi okwategekeddwa ku Klezia eno ku lw’okuna abakungubazi ne bakungaana mmisa n’etandika okugenda mu maaso kyokka omulambo ne gutaletebwa nga wano okunenya kwonna abantu bakutadde ku ntekateeka ya nnamwandu ono.

Wakati mu nnaku, Kwagala alombozze okwagala bba kw’abadde nakwo eri abantu n’ategeeza nga ono bw’amulekedde eddibu edene ku mutima.

Patience Mugunga nga ono naye Namwandu wa Okiot nga amulinamu n’abaana babiri ategezezza nga amawulire g’okufa kw’omwami we bwegaamutuukako nga ali bweru wa ggwanga kyokka n’asiima nnyo bonna ababaaddewo okuva amawulire gano ag’ennaku lwegaagwawo.

Asabye abakungubazi okwongera okubasabira ennyo kubanga embeera bw’eti ebeera ya kusomoozebwa n’asaba Katonda ayongere okubagumya.

Taata w’omugenzi, Paul Aolio asiimye nnyo Katonda olw’omuwa omwana omulungi era ow’empisa ebbanga ly’amaze nga akolagana naye.

Aba Famire ya Raphael nga batuuka mu kusaba

Aba Famire ya Raphael nga batuuka mu kusaba

Kyokka akaabizza abakungubazi nga ono bw’abadde omwana we omulenzi yekka gw’alina munsi n’ategeeza nga kino bwekiri ekigezo ekinene kyokka neyebaza Katonda nti kasita amulekedde abazzukulu.

Fr. John Bosco Sserumaga mu kubuulira akuutidde abantu okwongera okwekwata ennyo Katonda kubanga tetumanyi ddi w’anaatuyitira.

Asabye abakungubazi okwongera okusabira ennyo ab’oluganda ne mikwano gy’omugenzi kubanga ekiseera kino kibeera kizibu ddala.

Oluvannyuma omwoyo gw’omugenzi gutwaliddwa e Bukedea gy’anda okuziikibwa ku lw’omukaaga.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});