Abazade basabiddwa okukomya okusuula abaana

Peter Ssuuna
Journalist @Bukedde
May 09, 2024

OMUZE gw’abazadde abasuula abaana mu munisipaali y’e Lubaga gweyongedde, amaka agabalabirira galaajanye olw’omuwendo ogubayinze ne basaba abazirakisa okubakwatizaako.

Pascal Osire, bwe yabadde atuuzibwa ku bwa Puzidenti bwa Lotale y’e Lubaga owa 38 ku Das-Barlina e Bulenga, yanokoddeyo ku ky’omuwendo gw’abaana abasusse mu maka ga bakateyamba era n’asuubiza nti ku kisanja kye essira agenda kusinga kuliteeka mu kukunga banne okulaba nga babadduukirira.

Yategeezezza nti, mu kaweefube waabwe ono baakutandika n’amaka ga bakateyamba aga Kankobe agasangibwa e Kabowa era nga bano baabaddewo ku mukolo guno era yagambye nti essira bakuliteeka ku by’obujjanjabi n’endya ey’omulembe nabo okufuna obulamu obweyagaza wabula n’asaba abazadde okukomya omuze okusuula abaana.

Yasabye bannayuganda abalina kye basobola okutoola nabo okwegatta ku mulanga gwe okuvaayo okuyamba ku baana abatalina mwasirizi.

Ono yalondeddwa n’olukiiko lwe lw’anaakulembera nabo okuli omumyuka we, ow’ebyensimbi n’abalala.

Eyaliko Gavana wa Rotary Disitulikiti 9211 Ssaalongo Xavier Ssentamu era nga yeyabadde omugenyi omukulu yasabye abalondeddwa okubeera ab’esimbu ate n’okukola ennyo okulaba nga batuukiriza ekibondesezza.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});