Poliisi e Mbale, ekutte omusajja Mustaafa Kaziba, agambibwa okufumita mukazi we ekiso ekimusse.
Ettemu, libadde Wagagai cell mu Nkoma Ward mu Mbale Northern Division, Shakira, bw'abadde ava ku dduuka, okugula ebintu.
Kigambibwa nti Kaziba, amuwekwekeredde mu kazikiza okumpi n'amaka gaabwe, n'amufumita ekiso, n'amutta.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti ono bamukutte, ng'okunoonyereza, bwe kukolebwa.