PULEESA: Abantu obutafaayo kwekebeza kigifudde endwadde nnamutta
Jun 06, 2024
PULEESA bumu ku bulwadde obutta abantu nga tebamanyi kubanga bangi tebafaayo kwekebeza ng’abasawo bwe bakubiriza.

NewVision Reporter
@NewVision
PULEESA bumu ku bulwadde obutta abantu nga tebamanyi kubanga bangi tebafaayo kwekebeza ng’abasawo bwe bakubiriza.
Abalala babeera nayo nga bamanyi wabula nga tebafaayo kukozesa ddagala nga bwe libaweebwa ate mu butuufu bwalyo.
Puleesa za bika ebiwerako okuli; puleesa eya waggulu (Hypertension), puleesa eya wansi (Hypotension), era waliwo n’ekwata amaaso (Ocular Hypertension).
Dr. Willy Kato okuva ku Ndejje Health Centre IV, annyonnyola ku nsonga eno:
Abantu abasinga bamanyi nti, puleesa ekwata bantu banene, abakyala abali embuto, abantu abakuze mu myaka naye nga puleesa tetaliza
PULEESA Y’AMAASO
Puleesa ekwata amaaso (Ocular Hypertension) ekwata munda mu maaso era bw’erinnya n’esukka eyabya obusuwa bw’amaaso ekiyinza okugaziba.
Obuzibu bwa puleesa eno terina bubonero muntu w’asobola kulabira nti, agirina okuggyako ng’agenze ew’omusawo w’amaaso ayinza okukizuula. Kyokka bw’eba tejjanjabiddwa esobola okuziba amaaso oba okugoonoona.
EBIMU KU BIREETA PULEESA Y’AMAASO
1 Singa ofuna ekizimba mu liiso, kisobola okuleeta puleesa eno.
2 Singa omusuwa omunene ogutambuza amazzi g’eriiso gufuna obuvune oba gunafuwa.
3 Singa balongoosa eriiso ne bakosa emisuwa egimu nakyo kiyinza okuvaako puleesa.
4 Waliwo eddagala erimu abantu lye bamira nga lisobola okuvaako puleesa y’amaaso, n’ebirala.
ABATERA OKUFUNA PULEESA ENO
l Abakadde abali waggulu w’emyaka 60.
l Abava mu ffamire ezirimu abaalwala ku puleesa eno.
l Abalwadde ba ssukaali.
l Abalina ekizibu mu kulaba obunukuta obutono n’ebirala.
BW’OYINZA OKUGYEWALA
l Bw’obeera osiibye mu bifo ebirimu enfuufu oba omukka oba ebintu ebirala ebicaafu ebikugenda mu maaso, kisaanye ne weetonnyezaamu amazzi agooza amaaso nga tonneebaka.
l Okukyaliranga omusawo w’amaaso n’agakebera n’omanya embeera mwe gali nga tegannafuna buzibu.
Puleesa eya wansi eva ku musaayi kukendeera
Puleesa eya wansi (Hypotension oba low blood pressure) ejja ng’omusaayi oguli mu mubiri mutono.
Ereetebwa singa ofulumya omusaayi omungi, omubiri obutaba na mazzi gagumala, eddagala erimu abantu lye bamira omuli erikkakkanya ebirowoozo.
Endwadde z’omutima eziguleetera okwepika gukube bulungi nazo zissa puleesa.
N’omusaayi okwetukuta munda nga kino kiva ku ndwadde nga alusa n’ebirala.
KW’OLABIRA PULEESA EYA WANSI
1 Omutwe ogw’olutentezi.
2 Okubeera omunafu buli kadde.
3 Kammunguluze.
4 Okwerumika buli kadde.
5 Obuteewulira bulungi buli lunaku.
6 Okubeera omugonvu n’ebirala.
BW’OYINZA OKUGYEWALA
l Okukola dduyiro buli lunaku omusaayi ne gutambula bulungi.
l Obuteekuumira mu kifo kimu ng’owulira obunafu.
l Okunywa ennyo amazzi naddala emisana.
l Obutabeera mukovvu nnyo.
l Obutagabaagaba musaayi obeere n’ogukumala, n’ebirala.
Puleesa eya wansi (Hypotension oba low blood pressure) ejja ng’omusaayi oguli mu mubiri mutono.
Ereetebwa singa ofulumya omusaayi omungi, omubiri obutaba na mazzi gagumala, eddagala erimu abantu lye bamira omuli erikkakkanya ebirowoozo.
Endwadde z’omutima eziguleetera okwepika gukube bulungi nazo zissa puleesa.
N’omusaayi okwetukuta munda nga kino kiva ku ndwadde nga alusa n’ebirala.
KW’OLABIRA PULEESA EYA WANSI
1 Omutwe ogw’olutentezi.
2 Okubeera omunafu buli kadde.
3 Kammunguluze.
4 Okwerumika buli kadde.
5 Obuteewulira bulungi buli lunaku.
6 Okubeera omugonvu n’ebirala.
BW’OYINZA OKUGYEWALA
l Okukola dduyiro buli lunaku omusaayi ne gutambula bulungi.
l Obuteekuumira mu kifo kimu ng’owulira obunafu.
l Okunywa ennyo amazzi naddala emisana.
l Obutabeera mukovvu nnyo.
l Obutagabaagaba musaayi obeere n’ogukumala, n’ebirala.
Puleesa ekwata omuntu omusaayi bwe guyitirira mu mubiri ne gubeera nga tegusobola kutambula nga bwe guteekeddwa eyitibwa puleesa eya waggulu.
EBIGIREETA
l Omugejjo.
l Okulya omunnyo omungi.
l Obutakola dduyiro.
l Okunywa ennyo omwenge.
l Okunywa kaawa omungi.
l Okunywa sigala.
l Okweraliikirira.
l Abantu abakuze mu myaka.
l N’oluusi butambulira mu musaayi singa mu famire mulimu abagirina.
l Mu Afrika puleesa eno etawaanya nnyo abaddugavu.
l Obulwadde okugeza obw’ensigo, ssukaali, abalina ekizibu ky’obuteebaka, n’ebirala nabwo buvaako puleesa okulinnya.
l Abantu abawanvuwa ekisusse, ekirungo ekibawanvuya kivaako puleesa.
l Waliwo n’eddagala eriyinza okuvaako okulinnyisa puleesa y’omuntu alikozesa.
l Abakozesa ebiragalalagala nga enjaga nabyo bivaako okulinnyisa puleesa.
BW’OYINZA OKUGYEWALA
l Okulya emmere ezimba omubiri.
l Okulya omunnyo ogw’ekigero nga mufumbeko, si mubisi.
l Obutanywa mwenge kisusse.
l Obutanywa sigala.
l Okukola dduyiro.
l Okwewala omugejjo.
l Okwewala okweraliikirira, n’ebirala.
No Comment