Bawangudde engule ya Africa mu kukuuma obutonde

Jun 12, 2024

EDDWAALIRO lya C-Care (IHK), liweereddwa engule okulisiima olw’enkola gye lyatandika ey’okusimba emiti ne litaasa obutonde.

By Williams Ssemanda
Journalist @New Vision

EDDWAALIRO lya C-Care (IHK), liweereddwa engule okulisiima olw’enkola gye lyatandika ey’okusimba emiti ne litaasa obutonde.
Engule eno ey’eddwaaliro eryasinze mu Africa lyabaweereddwa aba Caring Life Family Award -Africa, olwa pulojekiti yaabwe mwe basimbira omuti ku buli mwana azaalibwa mu malwaliro gaabwe gye baatuuma 'One life one tree.'
Bwe baabadde ku mukolo ogw’okujaguza olw’engule eno ogwabadde ku ddwaaliro lya C-Care IHK e Namuwongo wiiki eno, akulira amalwaliro ga C-Care IHK ne C-Care IMC mu Uganda, Azhar Sundhoo yagambye nti enkola y’okusimba emiti baagitandika okukuuma obutonde, okuddiza abantu bonna ng’endagaano ku miti gye basimba eri nti tegirina kutemebwa nga teginnaweza waakiri emyaka 30.
Akulira pulojekiti eno, Jackie Nabukeera yagambye nti okuva lwe baatandika okusimba emiti ku buli mwana azaalibwa mu March wa 2023, baakasimba emiti 2,323 eminnansi ng’esinga gya ddagala n’ebibala mu bifo ebibaweebwa banywanyi baabwe aba Tree Adoption Uganda nga balina ekirooto eky’okusimba emiti 1800 buli mwaka.
Engule eno yabadde evuganyizibwako amalwaliro agasukka mu 100 kyokka olwa pulojekiti eno aba C-Care be baagyetisse.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});