Amawulire

Ssennyonyi ayagala okunoonyereza ku buli bw'enguzi kutandikire ku kominsoni ya Palamenti

AKULIRA oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Joel Ssenyonyi ayagala eby’okunonyereza ku bikolwa eby’obulyake ebifumbikidde mu palamenti bitandikire ku kakiiko ak’okuntiko akatwala palamenti aka Parliamentary Commission oba si kyo okunonyereza kuno kwandimaliriza nga kwefaanaanyirizza ng'okwakolebwa ku babaka abeenyigira mu mubbi bw'amabaati.   

Joel Sennyonnyi ng'annyonnyola
By: Edith Namayanja and Edith Namayanja, Journalists @New Vision

AKULIRA oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Joel Ssenyonyi ayagala eby’okunonyereza ku bikolwa eby’obulyake ebifumbikidde mu palamenti bitandikire ku kakiiko ak’okuntiko akatwala palamenti aka Parliamentary Commission oba si kyo okunonyereza kuno kwandimaliriza nga kwefaanaanyirizza ng'okwakolebwa ku babaka abeenyigira mu mubbi bw'amabaati.

 Kinajjukirwa nti ku lunaku lwa Mande poliisi eriko ababaka ba palamenti basatu beyakutte nga kiteberezebwa nti benyigira mu bikolwa eby’obuli  bw'enguzi okuli omubaka omukyala ow’e Lwengo Cissy Namujju, omubaka ow’e Busiki Paul Akamba kwosa omubaka owa Bunyole West Yusuf Mutembuli.

Ssenyonyi bwabadde ayogerako ne bannamawulire ategeezeezza nga bwatannaba kucamuukilira olw’okunonyereza okugenda mu maaso n'agamba nti singa wabaawo omubaka ku ludda oluwabula gavumenti ananokolwayo mu mivuyo gino amateeka gegajja okumulamula.

Ssenyonyi era agamba nti okunonyereza obulungi ku buli bwe nguzi basaanidde kutandikira kuba kakiiko akatwala palamenti  kuba eno ensonga zonna gyezitandikira nga ate ye mmemba ku kakiiko tayitibwanga kujja muntuula bukyanga atuula mu ntebe.

Ssenyonyi era agamba okumanya nti obuzibu butandikira ku commission ababaka bangi bemulugunya olw’obukiiko okubeera nti tebulina nsimbi zikola mirimu naye nga alaba ebintu ebitali bya nkizo biweebwa ensimbi...