Eyalumiriza Sipiika okubba amabaati g'e Karamoja ku yintaneeti

Jun 21, 2024

Owa NUP awerennemba na misango gya kusaasaanya mawulire ku mikutu emigattabantu bwe yategeeza nga sipiika Anita Annet Among bwe yabba amabaati g'e Karamoja

NewVision Reporter
@NewVision

MUNNAKIBIINA kya NUP era omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu awerennemba na misango gya kusaasaanya mawulire ku mikutu emigattabantu bwe yategeeza nga sipiika wa palamenti ya Uganda, Anita Annet Among bwe yabba amabaati g'e Karamoja.

Habib Buwembo 39, omutuuze mu zzooni ya Wakaligga e Lubaga, ye yasimbiddwa mu kkooti ya KCCA ku City Hall mu maaso g'omulamuzi Rehema Nasozzi Ssebowa nga June 12, 2024 ku Lw'okusatu okuwulirizza omusango ogumuvunaanibwa.

Buwembo avunaanibwa ng'aliko by Nga Ayogera

Buwembo avunaanibwa ng'aliko by Nga Ayogera

Omuwaabi wa gavumenti, Mercy Khaidara Yamangusho yategeezezza kkooti nti nga September 21, 2023 Buwembo yasinziira mu kifo ekitategeerekekka mu Kampala n’akozesa essimu ye okusaasaanya amawulire ga sipiika wa palamenti ya Uganda okubeera omubbi w'amabaati ekikolwa ekitaali kituufu okujolonga sipiika omulamba.

Kigambibwa nti nga September 22, 2023, Buwembo yakwatibwa okuvunaanibwa olw'ekikolwa kye yali akoze wabula nga November 13, 2023 yayimbulwa ku kakalu ka kkooti ka bukadde 3 nga za buliwo n'obukadde 10 ezitaali za buliwo eri abaamweyimirira.

Wabula omulamuzi wa kkooti eno Nasozzi  ayongezzaayo omusango guno okutuusa nga July 16, 2024 olw'abajulizi mu musango guno obutalabikako.

Buwembo ategeezezza nti omusango gwa sipiika Among okubba amabaati tekyali nsonga ntono nti emanyikiddwa wano mu Uganda wokka wabula ne mu mawagga g'ebweru yatuuka nga n'ensi z'e Bulaaya zimutaddeko envumbo olw'ekikolwa kye yakola.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});