Mutabani wa Sudhir: Ebizuuse ku kabenje
May 05, 2025
RAJIV Ruparelia (35), mutabani wa bifeekera Dr. Sudhir Ruparelia (69) afiiridde mu maanyi!! W’afiiridde abadde atunuuliddwa okuddukanya ebyobugagga bya kitaawe era nga yamuwa n’obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya ebyobugagga bya Ruparelia Group.

NewVision Reporter
@NewVision
RAJIV Ruparelia (35), mutabani wa bifeekera Dr. Sudhir Ruparelia (69) afiiridde mu maanyi!! W’afiiridde abadde atunuuliddwa okuddukanya ebyobugagga bya kitaawe era nga yamuwa n’obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya ebyobugagga bya Ruparelia Group.
Omukutu gwa Forbes gye buvuddeko gwafulumya olukalala lw’abagagga abasinga mu nsi ne balaga nti Sudhir Ruparelia y’asinga obugagga mu Uganda ng’abalirirwamu akawumbi kamu n’obukadde 600 eza doola za America (mu ssente eza Uganda bwe buwumbi nga 6,000) Sudhir alina bizinensi za banka, yinsuwa, amasomero n’amatendekero, ebyempuliziganya, amayumba agapangisibwa, wooteeri n’ebifo ebisanyukirwamu.
Ebyobugagga bye balina mulimu; Premier Recruitment Limited abafunira abantu emirimu ebweru w’eggwanga, Crane Management Services Limited, Delhi Public International School e Naggulu, Goldstar Insurance Company Limited, Kabira Country Club e Bukoto, Kampala International School Uganda.
Kampala Parents’ School, Speke Apartments Limited, Speke Resort and Conference Center e Munyonyo, Meera Investments Limited, Munyonyo Commonwealth Resort,
leediyo Sanyu FM 88.2 n’ebirala bingi.
Rajiv ye mwana omulenzi yekka owa Sudhir amanyiddwa gw'alina ne mukyala we Jyotsna Ruparelia. Basigazza abaana abawala babiri: Sheena Ruparelia ne
Meera Ruparelia.
EBIZUUSE KU KABENJE AKAAMUSSE
Akabenje akaamusse kaaguddewo ekiro ku Lwomukaaga ku ssaawa 7:54
ez’omu ttumbi bwe yabadde ku ttaawo lye Busaabala ng’ava e Kajjansi avuga adda
Munyonyo gye yabadde alina okusula.
Omwogezi wa poliisi y’ebidduka Michael Kananura yategeezezza mu
kiwandiiko kye yafulumizza nti omugenzi yabadde mu mmotoka ekika kya Nissan
GTR nnamba UAT 638L eyatomedde ebiseminti ebyabadde biteereddwaawo
abakola ekkubo mu nkulungo eri ku ttaawo.
Abantu b’omu kitundu abasooseewo nga poliisi tennatuuka baatutegeezezza ntimmotoka yatomedde ebisementi n’ebuuka mu bbanga mmita nga munaana era yagenze okudda ku
ttaka nga yingini yaayo egudde eri awo n'ekwata omuliro kubanga amafuta g’ebadde ekozesa ga nnyonnyi agakwata amangu omuliro.
Ekifo mmotoka we yafunidde akabenje, abantu b’omu kitundu baatugambye nti kumpi buli lunaku wafiirawo abantu okuva abakola oluguudo olwo lwe baasalawo
okussaawo ebiseminti.
Olw'okuba nti mmotoka yabadde ekutte omuliro ate nga mungi, kyabadde kizibu eri abaasooseewo okutaasa obulamu bwe. Poliisi ezikiza omuliro yagenze
okutuuka nga yasiridde dda.
OBULAMU BWE OBWASEMBYEYO
Okusinziira ku munnamawulire Andrew Mwenda, Rajiv yatuuse mu ggwanga ku Lwokusatu ng’ava e Bungereza ng’azze okubeera ku mbaga ya mukwano gwe Jonathan Bahizi Buteera ne Liz Mutoni. Pulogulaamu y’omukolo yalaze nga Rajiv y’omu mperekeze ensajja ezaabadde zitegekeddwa n’abalala okwabadde; Gideon Kirumira, Kiweewa Junju, Peter Kawanguzi, Ignatius Kirunga, Conrad Tumwine ne Banza Birondwa.
Ku Lwokutaano, yalidde ekyemisana ne nnyina ate ekyeggulo yakiridde ne kitaawe. Yasoose kukyakalamu ne mikwano gye.
Bwe yamaze yazzeeyo awaka n’akwata emmotoka ye n’agenda asule Munyonyo ewaabadde mikwano gye basobole okukwata obudde bw’okugattibwa mu lutikko ya All Sints e Nakasero.
Nga Mukama bw'asalawo, teyatuuse Munyonyo nga bwe yabadde ayagala.
Waliwo akatambi akaakwatid
EBIKWATA KU MMOTOKA NISSAN GT-R Sport EYASSE RAJIV
Rajiv abadde n'emmotoka ez’ebbeeyi okuli n’eya 2022, McLaren 765LT Spider, eyamuweebwa kitaawe nga ekirabo. Abadde ayagala nnyo emizannyo era abadde
muvuzi wa mmotoka z’empaka.
Emmotoka NISSAN GT-R Sport, y’emu ku zisinga okudduka mu nsi yonna. Akagambo GT-R kaggwaayo nti ‘Gran Turismo-Racing’ ekigissa mu ttuluba ly’ezo ezisobola okuvugibwa mu mmotoka z’empaka.
Nkola ya Mujapan gye yakazibwako erinnya erya Godzilla ekitegeeza “Monster from Japan”
l Nissan GT-R Sport egereegeranyizibwa ku mmotoka nga: Bugatti Valeron, Porsche Spyder, Lamboghini, Ferrari Enzo, Maclaren ne Aston Martin.
l Ng’ogirina nga yaakuliramu bulamu, buli ssaawa obeera otambulira mu kufa kuba nzirusi nga ne bw’otaba muddusi wa sipiidi, eno ekutuma yokka okugyongeza
omuliro.
l Ku baagazi ba sipiidi, atavuze ku Nissan GT-R Sport, talina ky'aba anyumiddwa. Esobola okutambulira ku nkola eya GPRS. Erina enkola eya ‘6-speed dual-clutch transmission’ ng’eno erimu ggiya 6 wabula ng’esobola n’okukyuka n’eddaautomatic’.
l Temutenda zi Subaru nti zidduka, eno sipiika yaayo ekubisaamu subaru emirundi ebiri n’okudda waggulu kuba yo tedduka wabula emyasa bumyansa! Esobola okumansuka
n’etuuka mu mayiro 200 (320km) buli ssaawa, ekitegeeza nti eva e Kampala n’egenda e Masaka n’edda mu ssaawa emu singa oluguudo terubaamu binnya!
l Tekozesa mafuta ga bulijjo, ekozesa AvGas (Aviation Gasoline) nga gano mafuta ga nnyonyi.
Emannyiddwaako oky’okuba ne yingini ey’amaanyi ‘twin-turbo V6’. Yingini eno okwawukana n’endala (eza V6) ezibeera ne turbo emu, eno erina 2 entonotono nga
ziyamba okukuba amafuta mu bwangu obw’ekitalo awatali kukooya turbo. Esikira ku mipiira gyonna ng’ate erimu tekinologiya akyasinze mu mmotoka zonna.
l Tanka yaayo egendamu liita 74, ya CC 3799, ezitowa kiro 2200.
Erina amataala egeeyongereza ku sipiidi kw’etambulira. Okuva mu 2009, bazze bagikyuskyusa n’okugyongeza amaanyi. Bagikolera mu Japan mu kkampani ya
‘Nissan Tochigi plant’. Ebalirirwa okuba ng’egula wakati wa doola 122,985 ne 222,985 (mu za wano bwe bukadde 450,640,899 - 817,060,299). akaakwatiddwa emisana nga Rajiv azannya ne muwala we ow’emyaka esatu awaka nga bakola duyiro nga buli omu alaga nti y’asinga. Alese omwana omu yekka.
EKIFO WE YAFIIRIDDE KIFUUSE KATTIRO
Ekifo omugenzi Rajiv we yafiiridde bangi ku bavuzi b’ebidduka
n’abatuuze mu kitundu bazze bakyogerako nti kyabulabe era kifuuse kattiro. Kumpi buli lunaku wabeerawo ebidduka ebitomeraganirawo ate bwe kituuka ku bodaboda, kisukka.
Ekifo kino kiri masang’aanzira awasalira emmotoka eziva e Kibuye, Masajja, Gangu okugenda e Kaazi Busaabala n’eziva e Ntebe - Kajansi okugenda e Munyonyo.
Okusooka tewaaliwo ttaawo kyokka mu ntegeka ya Gavumenti ey’okutereeza oluguudo lwa Munyonyo- Ntebe Express High Way oluwerako obuwanvu bwa kirommita 12 okuva e Munyonyo okutuuka e Kajjansi, baasalawo okuzimbawo ettaawo okuyambako ezimu ku mmotoka ziyite waggulu endala wansi.
Ebiseera ebimu oluguudo baluggala ne baluteekamu biseminti wakati okutangira emmotoka eziva e Kajjansi
No Comment