Bamasinale ba Iran bazzeemu okukuba Yisirayiri
May 05, 2025
Bamasinale ba Iran bazzeemu okukuba Yisirayiri

NewVision Reporter
@NewVision
ABALWANYI b’omu Yemen abawagirwa Iran bazzeemu okukuba Yisirayiri awaluma bwe bagikubye mizayiro enkambwe ne zigirema okubakira mu bbanga nga bw’etera
okwewaana.
Kino kirese katikkiro Benjamin Netanyahu ng’asuukira n’obusungu nga bw’awera okwesasuza.
Ekibuga kya Yisirayiri ekikulu, Tel Aviv kyakeeredde mu kasattiro ku Ssande, abalwanyi bano aba Houthis bwe baakasuse mizayiro enkambwe enkola za Iran ne zikuba okumpi
n’ekisaawe ky’ennyonyi ekikulu ekya Ben Gurion Airport ne zitta abantu abasukka mu 10, abalala ne bafuna ebisago n’okuyimiriza embuuka ’ennyonyi okumala ekiseera ku
kisaawe kino.
Minisita w’ebyokwerinda mu Yisirayiri, Israel Katz yasinzidde mu kifo ekyakubiddwa n’alabula nti oyo yenna eyeepimye mu kukuba Yisirayiri bagenda kumwanukuza
bukambwe obukubisaamu emirundi 7 mu bwe baabakozeeko.
Poliisi ya Yisirayiri yategeezezza nti obulumbaganyi buno bwabakosezza nti baatutte akaseera nga bayimirizza entambula z’ennyonyi, ez’eggaali z’omukka n’okusiba enguudo ezimu ezigenda ku kisaawe kino nga beerula ebifunfugu ebyavuddeku bulumbaganyi kyokka oluvannyuma lw’essaawa nga 5 embeera yazze mu nteeko, emirimu ne giddamu kinnawadda.
Guno gwe mulundi ogusoose ebyuma bya Yisirayiri ebibaka mizayiro lwe biremereddwa
okuzibaka bukya yasazaamu endagaano n’eddamu okukuba aba Hamas mu lutalo
oluyinda e Gaza.
ABA HOUTHIS BEEWAANYE
Nga waakayita eddakiika ntono nga mizayiro eno ekubye yisirayiri, omwogezi w’abakambwe ba Houthi, Yahya Saree yafulumizza akatambi ka vidiyo mwe yawulikise
ng’akinagguka, ng’agamba nti, “We njogerera tewali ayinza kukozesa kisaawe kya nnyonyi e Yisirayiri kuba bwe batyo bwe baabadde bakisazeewo.”
Ng’obulumbaganyi buno tebunnabaawo obugombe bw’ebyuma ebibaka mizayiro
bwavuze okwetooloola ekibuga ekikulu mu Yisirayiri kyokka abeebyokwerinda akyatakula mutwe nga beebuuza lwaki tebyasobodde kubaka mizayiro eno eyakubye ekitundu ku kisaawe ky’ennyonyi kino.
No Comment