Okukuza olunaku lw'ebyenjigiriza
May 04, 2025
MINISITA omubeezi ow'ebyemizannyo Peter Ogwang akakasiza nga eggwanga bweryetaaga ennyo amasomo g'emikono n'ekikugu okusobola okwenganga ebisoomooza ebijja n'enkulakulana y'ensi yonna

NewVision Reporter
@NewVision
MINISITA omubeezi ow'ebyemizannyo Peter Ogwang akakasiza nga eggwanga bweryetaaga ennyo amasomo g'emikono n'ekikugu okusobola okwenganga ebisoomooza ebijja n'enkulakulana y'ensi yonna .
Okwogera bino Ogwang abadde aggulawo omwoleso gw'amasomo g'ebyemikono n'ekikugu ku kisaawe e Kololo nga eggwanga bw'eryetegereza okujaguza olunaku lw'eby'enjigiriza olunaku olw'enkya .
Agamba amasomo gano nga gasoosowazibwa , galina okussa amaanyi ku kumalawo ebbula ly'emirimu nga gayigiriza abayizi obukugu obusaanidde mu kisaawe ky'okukola omuli n'okwetandikirawo emirimu .
Agamba omwoleso guno bukakafu nti singa eggwanga lissa amaanyi mu masomo agasaanidde, kijja kuyamba enkulakulana y'eggwanga eyawamu
Mu bubakabwe eri abavubuka, abategeezeza nti bbo, ye yingini y'eggwanga eri buli omukisa ogubaweebwa bwatyo n'abasaba okuba abakozi era abaguminkiriza .
Dayirekita w'omutindo gw'ebyenjigiriza mu ggwanga Frances Atima era nga yakuliddemu enteekateeka z'okukuza olunaku lwebyenjigiriza, agambye nti omwoleso guno era gujja kuba kitundu ku kukuza olunaku lw'abakozi
Bbo aboolesezza omubadde n'abeddwaliro lya Lubaga abooleseza obujanjabi obusookerwako eri afunye akabenje kye bayita Emergency care bbo bakubirizza bavubuka bannaabwe okukomya okulera engalo wabula bettanire amasomo gano .
No Comment