Ababaka okuva mu West Nile beetegekedde Pulezidenti Museveni
May 04, 2025
ABABAKA ba palamenti abakabondo ka West Nile parliamentary Caucus baweze okubanja pulezidenti Museveni oluguudo lwabwe olwa Nebbi-Gori- Zombo- Vura bwebanaaba bamusinkanye ku lw’okutaano lwebagambye nti lumaze emyaka 20 mu manifesto ya NRM.

NewVision Reporter
@NewVision
ABABAKA ba palamenti abakabondo ka West Nile parliamentary Caucus baweze okubanja pulezidenti Museveni oluguudo lwabwe olwa Nebbi-Gori- Zombo- Vura bwebanaaba bamusinkanye ku lw’okutaano lwebagambye nti lumaze emyaka 20 mu manifesto ya NRM.
Bano okubadde amyuka ssentebe w’akabondo kano Didi Bokha (Obongi County), Isaac Otimgiw (Padyere County) ne Gabriel Okumu (Okoro County) bamulumiriza luno lwelumu ku nguudo NRM zeyateeka mu manifesto ey’ekisanja ekiriko wabula nga oluvanyuma lw’ensimbi mu mbalirira okusalwako, luno lwajiddwa kwezo ezigenda okukolwa.
Ku lw’okutaano lwa wiiki eno, pulezidenti ayise ababaka ba kabondo ka NRM Entebbe okubaako byebegayamu era nga bano bagamba emirundi esatu gyakyadde mukitundu byabwe mu kisanja kino, azze abasuubiza okukolako wabula nga kati bagambye bagenda mujukiza zitekebwe mu mbalirira kubanga yakyaliyo akadde nga omubaka Otimgiw bwanyonyola.
Bokha agambye nti ekyennaku ensimbi zino zasooka nezifulumira mu alipoota y’akakiiko k’ebyenguudo naye nga kati ebyavuddeyo biraga nti terulimu kyokka nga eby’obusuubuzi byongera gotana buli kadde.
Ye omubaka Okumu agambye gavumenti efubye okubaletera emirembe nagamba nti wabula gino tebagyeyagaliramu olw’okuba enguudo mbi nga tebasobola kutuusa mmere gyebalya mubitundu birala kwenogera ku nsimbi.
No Comment