Abaana boolesezza ebitone mu mizannyo gy'ababundabunda
Jun 24, 2024
Kyabadde kijjobi ku kasaawe e Nsambya mu Kampala, abantu abasoba mu 500 bwe baakungaanye okukuza olunaku lw’ababundabunda. Olunaku luno lukuzibwa buli June nga 20 mu nsi yonna era nga mu Uganda emikolo emikulu gyabadde mu disitulikiti y’e Terego.

NewVision Reporter
@NewVision
Kyabadde kijjobi ku kasaawe e Nsambya mu Kampala, abantu abasoba mu 500 bwe baakungaanye okukuza olunaku lw’ababundabunda. Olunaku luno lukuzibwa buli June nga 20 mu nsi yonna era nga mu Uganda emikolo emikulu gyabadde mu disitulikiti y’e Terego.
Wabula abanoonyi b’obubudamu abawangaalira mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo bo baalukuzizza ku Lwokutaano nga June 21. Beegattiddwaako abakulembeze n’abatuuze b’ebitundu omubeera ababundabunda nga Nsambya, Muyenga, Kansanga, Kibuli n’ebirala.
Abaana ab'obuwala abava mu nkambi z'ababundabunda nga bagenda okubaka omupiira
Waabaddeyo Abasudani, Abasomaali, Abacongo, Abanyarwanda n’abava mu ggwanga lya Eritrea. Omulamwa gwabadde; Solidarity with refugees’ ekivvuunulwa nti; Okuyimirira n’ababundabunda.
Waabaddewo ebyokulya n’okunywa era oluvannyuma baanyumiddwa omupiira ng’akabbinkano kaabadde wakati wa ttiimu 16. Zino zaabaddeko n’ezabawala nga zaavudde mu bitundu ebyenjawulo wabula zonna zaabadde ntabike nga mulimu abazannyi ababundanda ne bannansi okulaga nti baawamu. Baabadde banekedde mu mijoozi egya langi ez’enjawulo.
Omukolo gwategekeddwa ekitongole kya Refugee Led Organizations Network (RELON) omwegattira ebibiina ebisukka mu 130 eby’abanoonyi b’obubudamu nga 50 ku byo biri mu Kampala.
Okusinziira ku Koul Arou Koul, okuva mu RELON Uganda, baasazeewo okwegatta ne bannayunganda nga bayita mu mupiira kubanga omuzannyo guno gugatta nnyo abantu. Koul yava South Sudan mu 2014.
Abamu ku baabadde ku mukolo
Omugenyi omukulu Rev. Canon Enid Hende okuva mu Education Response Plan (ERP) ekiri wansi wa minisitule y’ebyenjogiriza yeebazizza pulezidenti Museveni olw’okubudamya abantu ab’amawanga ag’enjawulo abadduka entalo n’okusosolebwa mu nsi zaabwe. Nti ate Museveni takoma okwo wabula ng’ayambibwako abagabi b’obuyambi, abantu bano abawa n’ebyobujjanjabi, ebyenjigiriza, ettaka n’ebintu ebirala bye beetaaga okubeera mu bulamu obulungi.
Mu ngeri y’emu Bob Mayonza akulira ektongole kya Pilgrim Center for Reconciliation Uganda (PCR) agamba nti bazze bakuza olunaku luno kati emyaka esatu era nga bagatta ababundabunda ne bannakampala.
“Tuyimirira wamu n’ababundabunda kubanga nabo bantu nga ffe ate ebimu ku bibasoomooza naffe bitusoomooza,” bwe yagambye.
Abaana nga bali mu ssanyu ly'okusamba omupiira
Jerry Lukendo Mbokani akulira RELON Uganda ng’ono yava Congo DRC era yaakabeera mu Uganda emyaka 16 agamba nti banne bangi basanyufu era nga bawangaala ne bannayuganda mu mirembe.
Ye Robert Hakiza akulira Young African Refugees for Integral development (YARID) yagambye nti baateeseewo wiiki nnamba okukuza olunaku lw’abanoonyi b’obubudamu. Baatandise ne ttabamiruka ku Mmande. Ku Lwokuna nga June 27 bagenda kwegatta ku bikujjuko bya Ofiisi ya Prime minister (OPM) n’ekitongole ky’ababundabunda ekya United Nations High Commission for Refugees (UNHCR)
No Comment